Amawulire

Nyakairima asoyezeddwa ebibuuzo

Ali Mivule

July 15th, 2013

No comments

Eyali aduumira amaggye g’eggwnaga Gen Aronda Nyakairima olwaleero kyadaaki alabiseeko mu kakiiko akasunsula abalondebwa okufuuka ba ministera n’asoyezebwa kajogijogi w’ebibuuzo.

Guno gubadde mulundi gw akubiri ng’akikola era ng’ogwasooka ebibuuzo byaggyawo olw’ensonga nti ono yali talekulidde kuva mu maggye.

 

Nga yakafuluma okuva mu kakiiko, Nyakairima agambye nti mukakafu nti ebibuuzo ebikubye budinda era nga mulimu gw’akakiiko okutegeeza eggwanga biki byebasazeewo.

Abalala abalabiseeko mu kakiiko ye minister omubeezi akola ku byobulamu Dr Allioda Tumwebaze ne omumyuuka wa Kaliisoliiso Miriam Wangadya

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *