Amawulire

Kabaka anjagala wakufuuka kyabulambuzi

Ali Mivule

July 10th, 2013

No comments

Executive director wa Kampala Jeniffer Musisi yeyamye okufuula  eky’obulambuzi oluguudo olwa Kabaka Njagala, oluli mukudabirizibwa . Jenifer Musisi okwogera bino abadde asisinkanye Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga e Bulange Mengo. Musisi agambye nti oluguudo luno lugenda kuzimbibwako ebiyitirirwa okusobola okusikiriza abalambuzi era lwakumalirizibwa mubudde. […]

Ettemu lisusse, babiri bafu, omu ataawa

Ali Mivule

July 10th, 2013

No comments

Poliisi e Nalumunye egudde ku mulambo gw’omusajja asuuliddwa mu luwonko.   Omugenzi ategerekese nga Buyondo Musisi nga mutuuze we Nankulabye mu kampala. Akulira eby’okunonyereza ku buzzi bw’emisnago e Nalumunye, Joseph Makumba agambye nti bantu ba bulijjo beebabakubidde essimu oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo guno   Omugenzi […]

Omuzikiti baaguguze

Ali Mivule

July 10th, 2013

No comments

Abayisiraamu mu kisenyi basaze akajegere oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti omuzikiti gwaabwe gwatundiddwa Bano bagamba nti bafunye amawulire nti waliwo omugga ategerekese nga Bosco Muwonge eyaguze omuzikiti

Eyasse omwana we akwatiddwa

Ali Mivule

July 10th, 2013

No comments

Omuzadde eyawuttudde mutabaniwe emiggo egimusse ng’amulanga kubuza sillingi 600, poliisi emukutte. Badru Kisitu y’akubye mutabaniwe Juma Bukenya ow’emyaka 6 n’amuttirawo Akulira poliisi y’e Katwe, Patrick Ismat agamba nti Kisitu bwe yalabye ng’omwana afudde, yayanguyirizza okumuziika kyokka kino tekyamutaasizza kusimattuka mateeka.

Jennifer Musisi akiise embuga

Ali Mivule

July 10th, 2013

No comments

Akulira ekibuga kampala  Jennifer Musisi akiise embuga e Bulange Mengo. Ono asisikanyemu kayikiro wa Buganda  Charles Peter Mayiga. Ababiri bano basuubirwa okuteesa kunkulakulana yekibuga nabutya ebintu bya gavt ebikyaali mumikono gya KCCA bwebiyinja okudizibwa obwakabaka bwa Buganda. Omwogezi wa KCCA , Peter Kawujju agamba ensisinkana […]

Aba FDC besozze akafubo

Ali Mivule

July 8th, 2013

No comments

Abakulembeze be kibiina kya FDC beevumbye akafubo okukubaganya ebirowoozo ku alipoota ekwaata ku mivuyo egikwaata ku kulonda kwasenkagale wekibiina okwaggwa gyebuvuddeko okwawangulwa maj  gen Mugisha Muntu.   Sentebe wekibiina  Sam Njuba yalukubirizza olukungaana luno nga era lwetabiddwamu akulira oludda oluvuganyab gavt  Nathan Nandala Mafaabi, nababaka […]

Abafiira e Namungoona bamanyise-ebivudde mu musaayi bifulumye

Ali Mivule

July 8th, 2013

No comments

Ebyavudde mu kukebera omusaayi n’obunyama bw’emirambo egyasiririra mu muliro, bifulumiziddwa. Guno gwe muliro ogwakwata ekimotoka ky’amafuta e Namungoona ku Northern Bypass ne gwokya abantu abagendayo okusena amafuta n’abaali ku ngendo zaabwe. Ab’eddwaliro ly’e Mulago baasalawo okukebera omusaayi gw’abali banonye emirambo egyali gitategeerekeka, okuzuula banyini gyo. […]

Nateete, Mubende,abataxi beekalakaasizza

Ali Mivule

July 8th, 2013

No comments

Oluvanyuma lwa poliisi y’ebidduka okussaawo ebibonerezo ebippya eri ba dereeva ba mmotoka ababa bazizza emisango, aba takisi balinye mu kyoto. Ba dereeva abakolera mu paaka y’e Nateete beesuddemu julume ne bagiggala ne bawera obutakola okugyako nga poliisi ekyusizaamu. Ssentebe wa siteegi y’e Nateete , Richard […]

Ekisiibo kikubye koodi

Ali Mivule

July 5th, 2013

No comments

Ng’ebula mbale abayisiraamu besogge omwezi gwa ramathan, bano basabiddwa okuyimirira ku mpagi z’buyisiraamu mu kaseera kano.   NNG’akulembeddemu Juma yaeero, district Khadi, Sheikh Sulaiman Ndirangwa agambye nti omwezi guno gwanjawulo kubanga gugyiramue byamagero   Ndirangwa agambye ti kaseera ka njawulo eria basiraamu okudda eri omukama […]

Omupoliisi bamusabidde

Ali Mivule

July 5th, 2013

No comments

Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi awakanyizza ebigambibwa nti omusirikale eyasse munne yakikoze mu bugenderevu Atwala poliisi ye bulenga, David Kamugira yeeyakubye Mathius Ntenzireyo amasasi agamusse bwebadde bakola ebikwekweto. Ng’ayogerera mu misaa y’okusbaira omugezi ku eklezia e Mulago, Kaweesi agambye nti teri Muntu […]