Amawulire

Ettemu lisusse, babiri bafu, omu ataawa

Ali Mivule

July 10th, 2013

No comments

Kaihura again

Poliisi e Nalumunye egudde ku mulambo gw’omusajja asuuliddwa mu luwonko.

 

Omugenzi ategerekese nga Buyondo Musisi nga mutuuze we Nankulabye mu kampala.

Akulira eby’okunonyereza ku buzzi bw’emisnago e Nalumunye, Joseph Makumba agambye nti bantu ba bulijjo beebabakubidde essimu oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo guno

 

Omugenzi ateberezebwa okubeera omugoba wa bodaboda kubanga asangiddwa n’ekikofiira kya ku mutwe

Mu ngeri yeemu mu bitundu bye Kulambiro, omugoba wa Bodaboda afumitiddwa ebiso abamupangisizza

Paul Lubega ono yapangisiddwa abasajja 2 okuva ku stage ye Kisaasi ku saawa nga ssatu

 

Bwebatuuse e Kulambiro bamwefuulidde nebamujjako pikipiki n’essimu ye era ng’okudduka nga bamanyi nti bamusse

Mukyala we Aisha Nambirige agamba nti waliwo abantu abamukubidde essimu nebamuyita yiriri nga bamanyi bba mufu kyokka nga akyaali mulamu