Amawulire

Abavubi beekalakaasiza

Ali Mivule

July 2nd, 2013

No comments

Abavubi ku mwaalo gwe katosi bavudde mu mbeera nebeekalakaas lwakubagaana kuvuba   Bano balumbye abakulembeze ba district beebagamba beebasinze okubalinnyira mu mugaati   Abavubi bano balagiddwa obutavuba okumala eyezi esatu okusobozesa ebyenyanja okukula   Abavubi bano kigambibwa okuba nga bavuba nnyo obwenyanyanja obuto ate nga […]

Ab’omuliro bafunye obuyambi-abalala balinze mirambo

Ali Mivule

July 2nd, 2013

No comments

Gavt etuukirizza ekisuubizo kyokuliyirira abo abajiiride mumuliro e namungoona oluvanyuma lwekimotoka kyamafuta okwabika. Abantu 13 bebakafuna obukadde 5 kwaabo 52 abalina okuliyirirwa ensimbi zino. Omukungu okuva mu maka gomukulembeze weggwanga  Ruth Nakyobe agamba abo abfiira mumuliro guno, bazadde baabwe bebagenda okuweebwa sente zino oba abenganda […]

Aronda bamutabukidde

Ali Mivule

July 1st, 2013

No comments

Abavuganya mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga balinnye mu Kyoto nga bagamba nti teri kuyisaamu muduumizi w’amaggye kufuuka minister nga tamaze kulekulira kugavaamu Kiddiridde palamenti okugoba eyali omuduumizi w’amaggye eno nga tebamuyisangamu olw’ensonag nti akyaali munnamaggye omukulu ng’alina kusooka kulekulira Omubaka wa municipaali ye masaka nga naye […]

KI loole ekirala kigudde

Ali Mivule

July 1st, 2013

No comments

Omusajja omu addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka ki fuso bwekiremedde omugoba waakyo. Bino bibadde ku ssekabaka ku luguudo oluva e Wakaliga okudda e Nateete.   Ki loole kino no. UAJ 341 M kibadde mu jaamu kyokka nga bwekisimbudde kigaanye okusiba era dereeva waakyo mu […]

Abaana basirikkidde mu muliro

Ali Mivule

July 1st, 2013

No comments

Abaana babiri baasirikkidde mu muliro ogukutte enyumba e Mukono. Bino bibadde ku kyaalo Ssugu mu ggombolola ye Mpata mu district ye Mukono. Abagenzi bategerekese nga Christine Nakanwagi ow’emyaka 6 ne Irene Namatovu ow’emyaka 4 Maama w’abaana bano, Julian Nakakande agamba nti abantu abatannategerekeka bakumye omuliro […]

President Museveni wakuyamba abayidde

Ali Mivule

July 1st, 2013

No comments

President Museveni asuubizza okukwatiza ku bantu abakoseddwa omuliro e Namungoona. President agamba nti kyannaku okulaba nti abantu baafudde kyokka era nasaba abavubuka okukoma okulwanyisa enteekateeka za gavumenti ez’okutondawo emilimu kubanga kyekivaako embeera eyavuddeko okufa Omuwendo gw’abantu abakafa oluvanyuma lw’okwokebwa omuliro ogwavudde mu kimmotoka ekyabadde kitwala […]

Ba dereeva beediimye

Ali Mivule

July 1st, 2013

No comments

Ba dereeva ba takisi bakedde kwekalakaasa e Jinja nga bawakanya amateeka g’ebidduka amaggya./ Poliisi eyiiriddwa e Bugenba mu kibuga ky’e Jinja, ba dereeva bano bwe bataamye obugo ne balemessa ebidduka byonna okutambula nga baagala ba dereeva bonna babegatteko mu kwekalakaasa nga bawakanya amateeka gano. Aduumira […]

Abasuubuzi bagguddewo amaduuka

Ali Mivule

June 29th, 2013

No comments

Kyadaaki abasuubuzi basazizamu akediimo kaabwe. Kino bakituseeko oluvanyuma lwensisinkano wakati wabakulira aba KACITA , neminister webyobusuubuzi America Kyambadde.   Sentebe wa Kacita  Everest Kayondo agamba basobodde okutegeeragana ne gavumenti era kati baakuggulawo amaduuka gaabwe binambiro. Mulukungaana lwa bannamawulire, Minister Kyambadde yeetondedde abasuubuzi era nategeza nga […]

Poliis eyiriddwa ku Owino

Ali Mivule

June 27th, 2013

No comments

Police ekyebulungudde akatale ka owino .. Police yeddizza ebyokukuuma akatale kano oluvanyuma lwabasuubuzi okwekyanga oleobutayagala kusasula mpooza eyabul;I mweezi abakulira akatale gyebaabadde bazeemu okusolooza.   Aduumira police yobukiikakono bwa kampala  Stephen Tanui, ategezezza nga bwebatajja kusetula kigere paka nga obunkenke buweddewo mu katale kano. Ku […]

Abasuubuzi balemeddeko

Ali Mivule

June 27th, 2013

No comments

Akeedimo kabasuubuzi kakyagenda maaso era olwaleero kayingidde olunaku olwokusatu. abamu ku basuubuzi bapondoose nebaggula amaduuka gaabwe naye nga bano beebataklera mu bizimbe bya arcade. Go amaduuka agasoba mu 5 magule mu bitundu bye katwe. Bbo bananyini bizimbe mu kampala baaweze obutagula bizimbe byaabwe paka nga […]