Amawulire

Akasattiro

Ali Mivule

July 16th, 2013

No comments

Wabaddewo akasattiro ku kizimbe kya workers house mu kampala, akade k’omuliro bwekavuze mu butanwa.

Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omu ku balongoosa mu butanwa akoonye ku kade akawogganidde waggulu abakozi bonna tebatandika okudduka.

Bangi balabiddwaako nga balwanira emiryango egifuuse emitono mu kadde eko.workers house

Akulira abakuumi ba Saracen abakuuma ekizimbe kino Yahaya Mutabaazi agambye nti banguye okuyita abazinya mooto kyokka bagenze okwekebejja ekizimbe kyonna nga temuli muliro.

Kino kikosezza n’abatembeeya ebintu ku luguudo luno olwa Colville abataddeko kakokola tondeka nyuma bwebalabye abafuluma ekizimbe nga badduka

Ebyentambula nabyo bikoseddwa kyokka ng’oluvanyuma lw’essaawa nga nnamba embeera ezze mu nteeko.