Amawulire

Teri Cholera

Ali Mivule

July 16th, 2013

No comments

Cholera chn

Oluvanyuma lw’abanonyi bobubudamu okuva e congo okweyongera okweyiwa mu ggwanga, Ministry y’ebyobulamu eri bulindaala okwanganga endwadde eziyinza okubalukawo.

 

Waliwo okutya nti endwadde nga cholera ne Ebola zandibalukawo.

 

Omwogezi wa Ministry eno , Rukia Nakamatte agamba bakebedde abaabadde balwadde ekidukano  naye tebanazuula alina cholera.

Agamba balagidde ab’ebyobulamu mu district ye Bundibugyo okutwala abo bonna be batebereza okuba ne Cholera e Fort portal bajanjabibwe.

Abanonyi bobubudamu okuva mu ggwanga lya’ congo abasoba mu 3000 baasaze dda okwesogga Uganda oluvanyuma lwokulwanagana okw’amanyi mu kitundu ky’egoma

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *