Amawulire

Lwaki temusasula bakozi-Spiika Kadaga

Ali Mivule

July 16th, 2013

No comments

 

Speaker orders

Spiika wa palamenti Rebecca Kadaga alagidde ministry ekola ku nosnga z’abakozi okuleeta alipoota ennambulukufu ku misaala gy’abakozi ba gavumenti egikyabuze

Kadaga agamba nti palamenti bagissa ku nninga okuyisa embalirira ey’enjawulo kyokka nga kyewunyisa nti ensimbi zino ezayisibwa tezizingiramu misaala gya bakozi ba gavumenti

Ababaka okuli Odonga Otto ne Medard Bitekyerezo be baleese ensonga eno mu palamenti nga balaga obutali bumativu ku butasasula bakozi ga gavumeni negyebuli kati.

Minister omubeezi akola ku nsonga z’abakozi, Sezi Mbaguta agamba nti ezimu ku nsimbi ez’enjawulo bazifuna kikereezi nga abakozi bakuzifuna ku nkomerero y’omwezi guno

Mbaguta era asuubizza nga abakozi bano bwebagenda okusasulwa era nga ministry yakuvaayo ne alipoota enambulukufu ku biriwo kati mu ssabiiti ssatu

Abakozi ba gavumenti abamu omuli n’abapoliisi tebanasasulwa musaala gwa mwezi gwa mukaaga

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *