Amawulire

Eby’okwerinda bikaligiddwa e Luweero

Ali Mivule

May 19th, 2014

No comments

Poliisi yenyonyoddeko ku basirikale abanji beeyiye mu disitulikiti ye Luweero abaayo nga betegekera okuddamu okulonda omubaka waabwe omukyala ku lunaku olwokuna. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Lameck Kigozi agamba kino kigendereddwamu kutebenkeza bya kwerinda mu biseera by’okulonda n’oluvanyuma . Abantu 4 bebesimbyewo ku kifo […]

Olukungaana lw’abawagizi ba Mbabazi luyimiriziddwa

Ali Mivule

May 19th, 2014

No comments

Poliisi erinye eggere mu lukungaana lw’abavubuka ba NRM e Kayunga. Olukungaana luno lubadde lwakukubirizibwa mukyala wa ssabaminister w’eggwanga  Jackeline Mbabazi. Akulira abavubuka bano, Swaibu Aliga agamba nti poliisi bagiteegeeza bukyaali era nga babadde tebasuubira kutataaanyizibwa. Olukungaana luno welujidde nga wakyaliwo okusika omugwa wakati w’ebiwayi bw’abavubuka […]

2016:Kadaga ali mu mwanjo

Ali Mivule

May 19th, 2014

No comments

Abakyala mu bibiina by’obanakyewa basembye okunonyereza okwafulumidde mu lupapula lwa Daily Monitor okwalaga nga sipiika wa palamenti  Rebecca Kadaga ne muk’omukulembeze w’ggwanga Janet Museveni  bwebali ku mwanjo mu kuddira mu bigere bya Presidenti Museveni. Okunonyereza kuno kwakolebwa olupaopula lwa Daily Monitor n’omukago ogugatta ebibiina by’obwanakyewa […]

Omusawo Lydia Namubiru gumusse mu vvi

Ali Mivule

May 19th, 2014

No comments

  Omusawo agambibwa okukuba omwana empiso gyeyali yekozesezzaako gumusse mu vvi Rose  Namubiru omwana eyali omukozi Victoria Medical center yakozesa empiso ku mwana wa myaka 2. Omulamuzi Olive Kazarwe agambye nti Namubiru musawo amaze emyaka 30 ng’awereza nga yandibadde akimanyi nti kikyaamu okukozesa empiso emu […]

Teri kwongezaayo kuwandiisa bantu- Minista

Ali Mivule

May 17th, 2014

No comments

Gavumenti ezzeemu okukikkatiriza nga bw’etagenda kwongezayo kwewandisa kwa bannayuganda okufuna endaga Muntu. Gavumenti  yatandika okuwandiisa abantu, kyokka ng’enteekateeka eno ezze efuna ebizibu eby’enjawulo naddala ebyuuma okwononeka wamu n’abawandiisa okwekalakasa obutasasulwa. Minisita akola ku nsonga ez’omunda mu ggwanga , Gen. Aronda Nyakayirima agambye nti tewali nteekateeka […]

Bulange Plaza kati eyitibwa Masengere

Ali Mivule

May 17th, 2014

No comments

Kamalabyonna wa Buganda owek Charles Peter Mayiga azzeemu okukikkatiriza nga bw’atajja kukolagana Muntu yenna atali mutangaavu mu by’akola. Katikkiro okwogera bino abadde atikkula aba Multiplxe ettofaali lya bukadde 10 n’abantu abalala abaleese ettofaali. Kamalabyonna agambye nti ekisinze okutta Buganda ne Uganda okutwaliza awamu beebakulembeze abatali […]

tetujja kukoma kusaba ttofaali

Ali Mivule

May 16th, 2014

No comments

Katikkiro wa Buganda owek Charles Peter Mayiga avudde omwaasi ku balumba Buganda ku nsonga y’ettofaali Kiddiridde abantu okutandika okubisoma nga Buganda bw’eyitirizza okusaba ensimbi z’otafaali. Katikkiro agamba nti ebigambo bino kawefube yenna ow’enkulakulana abaamu aboogezi wabula nga kino tekigenda kumujja ku mulamwa. Bino Kamala byonna […]

Amasanyalaze gasse omwana

Ali Mivule

May 16th, 2014

No comments

Ebadde ntiisa ku kyaalo Buyoga e Kisaaka mu disitulikiti ye Lwengo,omuwala ow’emyaka 13 bw’akubiddwa amasanyalaze negamutta Zaituni Nassimba nga muyizi mu kibiina ky’omukaaga alinnye ku waya y’amasanyalaze bw’abadde akwata enseneene Maama w’omwana ono agambye nti omwana ono abebbyeeko n’agenda okukwata ensenene ku kyaalo Kankamba gy’afiiridde […]

Abasiyaga omuwala bayimbuddwa

Ali Mivule

May 16th, 2014

No comments

Abasajja ababiri enzaalwa ze Pakistan abagambibwa okusiyaga omuwala ow’emyaka 23 kyaddaaki bayimbuddwa Buli omu asasudde obukadde 5 ezibuliwo nebalagirwa n’okuwaayo paasipoota zaabwe eri kkooti. Ababeeyimiridde babadde bannayuganda bana nga bonna balagiddwa okusasula obulwadde 30 ezitali za buliwo n’okuwaayo paasipoota zaabwe Balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Lilian […]

Ebya Kanyeihamba okuwaaba bitukubye wala- Bakiwaji ba NRM

Ali Mivule

May 16th, 2014

No comments

Ababaka abagobwa mu kibiina kya NRM bagamba nti kibakubye wala okuwulira nti eyali omulamuzi George Kanyeihama abakubye mu mbuga z’amateeka. Prof Kanyeihamba yasazeewo okuwaaba ababaka bano ng’ayagala bamusasule obukadde 300 lwakuwoza misango gyaabwe Ababaka aboogerwaako kuliko Theodore Sekikuubo, Mohammed Nsereko, Wilfred Niwagaba ne Barnabas Tinkasimire […]