Amawulire

Nadduli alumbye aba DP e Luweero- muwayiiriza

Ali Mivule

May 14th, 2014

No comments

Ssentebe wa disitulikiti ye Luweero, Abdul Nadduli azizza omuliro ku ba DP abamulumbye olw’okutiisatiisa abantu baabwe. Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao yalumirizza Nadduli okuleeta akavuyo mu kulonda kwe Luweero ng’aagira abawagizi baabwe bakwatibwe Nadduli agamba nti buno bukodyo by’abavuganya okufuna obululu naye babalaba.

Kasibante asasuddwa

Ali Mivule

May 14th, 2014

No comments

Omubaka akiikirira abantu be Rubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante mugagga. Ono olwaleero gwebaali bavuganya naye Katongole Singh amusasudde obukadde 50 kw’ezo 60 z’abadde abanja. Katongole asuubizza nti ezisigaddeyo wakuzisasula mu ssabbiiti 2 N’abakakiiko akalondesa balina okusasula kasibante obukadde nkaaga nga basuubizza nti bakutuukiriza ng’ennaku z’omwezi […]

Omwana attiddwa lwakubba ssente

Ali Mivule

May 14th, 2014

No comments

Poliisi ezudde omulambo gw’omwana ow’emyaka 11 nga guggaliddwa mu nyumba mu bitundu bye Nsooba Mulago Omwana ono ategerekeseeko erya Seera kigambibwa okuba nga yatulugunyiziddwa okutuuka lweyafudde olw’ebigambibwa nti yabbye shillings 1500 ezabadde ez’omukozi we waka Akulira poliisi ye Mulago Hashim Kasinga, agamba nti bamaze okukwata […]

Abe Tooro kyaddaaki batuuse mu palamenti

Ali Mivule

May 14th, 2014

No comments

Abavubuka okuva e Tooro kyaddaaki bawaddeyo ekiwandiko kyaabwe eri spiika Rebecca Kadaga. Babanja bintu byaabwe byebalumiriza gavumenti okutwaala mu mwaka gwa 1966. Abavubuka bano bawerekeddwaako omumbejja Elizabeth Bagaya nga bagamba nti balina okuweebwa ebyaabwe nga n’abalala bwebabakola Mu kubaddamu, Sipiika Rebecca Kadaga agambye nti abantu […]

Ebbago ku Siriimu Balisimbidde Ekkuuli

Ali Mivule

May 14th, 2014

No comments

  Okuyisa ebbago lya  siriimu omuli enyingo eziragira abasawo okwasanguza abalina siriimu wamu n’abakyala okukaka ba bbababwe okugenda okwekebeza sirimu kukyagyamu abantu abenjawulo omwasi. Okusinziira ku kibiina ekirwanirira eddembe ly’abawangaala ne siriimu nga kwogasse amateeka ekya Uganda Network on law, Ethics and HIV, singa ebbago […]

Nnalongo Waragi Amukanudde

Ali Mivule

May 14th, 2014

No comments

  Naalongo ow’enzaalo essatu afudde oluvanyuma lw’okwekamirira walagi womubuveera owokumukumu namukanula. Omugezni ategerekeseKo erya Namanda kigambibwa nga bulijji yagenzeko mu katawuni kewakisekka okunywamu nakomawo ewaka nga talidde kimala okukakana nga afudde. Landiloodi w’omugenzi ategerekese nga Steven Lugemwa ategezezza nga bwebawaliriziddwa okumenya enyumba Namanda mwabadde asula […]

Ogwa Ssewungu ku byenjigiriza gwongezeddwaayo

Ali Mivule

May 13th, 2014

No comments

Kkooti enkulu mu ggwanga eyongezezzaayo omusango ogwawaabwa omubaka Joseph Ssewungu ku nsimbi ezissibwa mu byenjigiriza. Ssewungu yaddukira mu kkooti ng’ewakanya eky’okukendeeza ensimbi ezissibwa mu byenjigiriza okukendeeza. Olwaleero akiikiridde ssabawolereza wa gavumentio Henry Oluka ategeezezza kkooti nti beetagayo obudde okwetegereza okwemulugunya kwa Ssewungu Omusango guno kati […]

Etteeka ku mukenenya liyise

Ali Mivule

May 13th, 2014

No comments

Palamenti kyaddaaki eyisizza ebbago ly’etteeka elikaliga abo abasiiga banaabwe obulwadde bwa mukenenya mu bugenderevu. Kiddiridde okukubaganya ebirowoozo ku bbago lino ng’ababadde basing okuliwakanya beebebibiina byobwa nnakyeewa Kati omuntu anasiiga munne siriimu mu bugenderevu wakusibwa emyaka 10 oba okuwa engassi ya bukadde butaano oba byombi. Akawaayiro […]

Abavubuka ba NRM bakkiriziganyizza

Ali Mivule

May 13th, 2014

No comments

Abavubuka abatalina kambugu mu kibiina kya NRM bongedde okusisinkana pulezidenti museveni era nga bakkiriziganyizza okugira nga bayimiriza ttabamiruka buli omu gw’ategese. Kiddiridde abavubuka bano buli omu okutegeka enkiiko ng’abamu bateekateeka kuyisaamu Amama Mbabazi ng’omukwasi wa Bendera yaabwe ate abalala nga balinze kuyisaawo pulezidenti museveni. Olunaku […]

Abasiraamu bandisubwa Hijja

Ali Mivule

May 13th, 2014

No comments

Abayisiraamu abasoba mu 1000 b andisubwa okugenda e Makka okukola hijja lwa nsalesale w’okwewandiisi okusemberera okuggwako. Kino kijidde mu kiseera nga okwendiisa kuggwako ku nkomerero y’omwezi guno nga bwekyalagirwa gavumenti ya Saudi Arabia. Ssentebe w’ekibiina ekigatta abatwala abantu e Makka  sheikh Hassan Kirya agamba bakawandiisawo […]