Amawulire

Uganda yerinze abatujju

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

Oluvanyuma lw’abantu 4 okufiira mu bulumbaganyi  bw’obutujju mu ggwanga lya Kenya ku wiikendi, ebitongole by’ebyokwerinda byongeddemu amaanyi mu by’okwerinda. Ku lwomukaaga bomu ya grenade yategeddwa ku mwalo e Mombasa kumpi ne hotel emu nga 15 bbo babuuse n’ebisago ebyamanyi. Kati omwogezi wa poliisi mu ggwanga […]

Ofiisi z’abalwanirira eddembe zimenyeddwa

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

Poliisi ekyagenda maaso n’okunonyereza ku bazigu abayingiridde ofiisi z’ekibiina ekirwanirizi ky’eddembe ly’obuntu ekya Human right network Uganda wali e Ntinda nebabbamu byabukadde. Poliisi ekifo kyonna ekizinzeko nga okunonyereza bwekukyagenda maaso. Okusinziira ku omu ku bakulira ekibiina kino Patrick Tumwine,ebisinga byabiddwa nga n’omukuumi wa ofiisi talabikako. […]

Lunaku lwa ddembe lya bannamawulire

Ali Mivule

May 3rd, 2014

No comments

Uganda olunaku lwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lwa bannamawulire. Olunaku luno lwassibwaawo ab’ekibiina ky’amawanga amagatte mu mwaka gwa 1993 okusiima emirimu egikolebwa bannamawulire n’okutumbula eddembe lyaabwe Bannamawulire olwaleero bakukungaanira ku kibangirizi kya Chogm okuliraana palamenti nga bagenda kukumba okwongera okutuusa edoobozi eri abantu […]

NRM egula abalonzi e Luweero- DP

Ali Mivule

May 2nd, 2014

No comments

Ekibiina kya DP kikiise ensingo era kyagala akakiiko k’ebyokulonda kanonyereze ku bigambibwa nti ekibiina kya NRM kiri mu kumansa musimbi mu balonzi e  Luwero nga betegekera okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district eno. Muinna DP nga yesimbyewo ku kifo kino  Brenda Nabukenya agamba nti omukulembeze […]

KCCA eyimirizza ekivvulu kya Goodlyfe

Ali Mivule

May 2nd, 2014

No comments

Ababadde beesunga ekivulu kyaba  goodlife ekya maaso baakugira nga balindako okubiteekamu engatto. KCCA eyimirizza ekivvulu kya bano lwabutaba na lukusa kutegeka kivvulu kino okuva eri KCCA. Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba amateeka okutegeka ekivvulu mu kampala malambulukufu bulungi kale nga atalina lukusa takkirizibwa kutegeka […]

Abasawo e Lyantonde beedimye

Ali Mivule

May 2nd, 2014

No comments

Abasawo ku ddwaliro e Lyantonde bassizza wansi ebikola. Bano bawakanya okukwatibwa kwa musawo munaabwe Gorreti Nansubuga eyagaanye okukola ku mulwadde eyasindikiddwa RDC Sulaiman Matojo wabula n’amulagira okusimba ku lukalala. Abasawo bano bagamba nti musawo munaabwe talina musango kubanga buli muntu alina okusimba mu layini . […]

Abavuganya bakukkulumye

Ali Mivule

May 2nd, 2014

No comments

Ab’oludda oluvganya gavumenti benyiye olw’emisago egibavunanibwa mu makooti agenjawulo okutambula mungeri eyakasoobo. Kino kiddiridde emisango gy’okukyankalanye ekibuga kampala omwaka oguwedde okwongezebwayo wali mu kooti ya Buganda Road. Abavunanwa kuliko eyali ssenkagale wa FDC , Dr Kiiza Besigye, ssenkagale w’ekibiina kya Jeema  Asuman Basalirwa, ababaka  Muwanga […]

Bannamawulire balongosezza CPS, n’okusabira banaabwe abaafa

Ali Mivule

May 2nd, 2014

No comments

Wakati mu ku kugezako okutekawo enkolagana enungi ne poliisi y’eggwanga bannamawulire bakedde kuyonja kitebe kya poliisi mu kampala. Omukwabaganya w’ekibiina ekirwanirira eddembe lyabannamawulire ekya Human Rights Network for journalists Robert Sempala agamba olwaleero basazewo okukwatagana ne poliisi era babalombojere ebibaluma osango okutyobola eddembe lyabanamawulire okuva […]

Abavubuka ba Mbabazi bayimbuddwa

Ali Mivule

May 2nd, 2014

No comments

Abavubuka ba NRM 2 ababadde bavunanibwa okukungaana mu bukyamu emikono  gyabanakibiina kya NRM okuwakanya eky’omukulembeze w’eggwanga okwesimbawo awatali amuvuganyanga mu 2016  emisangi gyino gibajiddwako. Kino kiddiridde omuwabi wa gavumenti nga akiikiriddwa munanamateeka Jane Francis Abodo okutegeeza nti enjuyi zombie zakiriziganyizza ensonga eno okujimalira wabweru wa […]

Abavuganya bavuddeyo omwaasi ku bya Museveni okwesimbawo yekka

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

Abali ku ludda oluvuganya gavumenti batandise okwekengera eby’okuyisaamu pulezidenti Museveni nga tavuganyiziddwa Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye agamba nti kuno kuziyiza nkola eya domokulasiya Nn’ayogerako eri bannakasangati, Besigye agambye nti bagenda kwekolamu omulimu okulaba nti kino tekikola kubanga nabo kibatwaliramu Ababaka mu […]