Amawulire

obukadde 450 bwakusasanyizibwa mu kulonda kwe Luwero

Ali Mivule

May 8th, 2014

No comments

  Akakiiko k’ebyokulonda kataddewo obukadde 450 okutambuza  okulonda kw’okujuza ekifo ky’omubaka  ow’e Luwero. Bwabadde ayogerako nebannamawulire, akola nga ssentebe w’akakiiko kano  Tom Buruku ategezezza nga ssente zino bwezigenda okukozesebwa okugula ebigenda okukozesebwa mu kulonda. Mungeri yeemu omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba ebyokwerinda […]

Eddwaliro Ly’e Kilembe Ligaddwa lwa Mataba

Ali Mivule

May 8th, 2014

No comments

    Eddwaliro ly’ekilembe mu district ye Kasese ligaddwa oluvanyuma lw’omugga Nyamwamba okuddamu okubooga amazzi neganjala  mu busenge bw’abalwadde. Abalwadde abasinga bekakabye nebava mu ddwaliro lino okuwona okutwalibwa amazzi gano nga ababadde  obubi bayambiddwako abakulira district okubatwala ku lukalu. Abasinze okukosebwa be banakawere n’abakyala abembuto Agavayo […]

Akabenje e Masaka- omu afudde

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Omuntu omu y’afiiriddewo mu kabenje akabadde e Nyendo Masaka. Omugenz ategerekeseeko lya Richard ng’abadde asala kkubo ku ssundiro lya TOTAL ku luguudo oludda e Mbarara. Emmotoka ekoonye omusajja ono kika kya Premio naye nga tetegerekese namba. Aduumira poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka e Masaka, James […]

Nigeria ettaddewo ekirabo eri abamanyi abawala gyebali

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Poliisi mu ggwanga lya Nigeria etaddewo emitwaalo gya doola emitwaalo 30 eri omuntu anabatuusa awali abawala b’essomero abawambibwa. Abawala bano abasoba mu 200 bawambibwa ssabiiti ssatu emabega okuva ku ssomero ly’ekisulo erisangibwa mu kibuga Borno. Abawala abalala 11 bawambiddwa okuva ku byaalo 2 ebyalumbiddwa abagambibwa […]

Obuwumbi 10 okusattulula obujagalalo mu myezi 3

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bakunyizza senkaggale wa Poliisi Gen Kale Kaihura olw’ensimbi ezissibwa mu kukkakkanya abeekalakaasa Kiddiridde ababaka okutegeezebwa nga poliisi bweyakozesa obuwumbi 10 mu kusattulula abeekalakaasi okuva mu mwezi gw’omusanvu okutuuka mu gw’omwenda omwaka oguwedde. beebuzizza ku buwumbi 10 poliisi z’egamba nti yakozesa […]

Omukyala abadde aweese agudde

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

  Omukyala abadde aweese omwana ku mugongo aseredde okuva ku Kasozi waggulu n’agwa wansi omwana n’afiirawo. Ono akasozi k’abaddeko kali kumpi n’enyanja Albert Omukyala ono ategerekese nga Daphine Twinamasiko abadde yettisse emmere ku muwe kyokka nga bw’aweese n’omwana ow’omwana ow’omwaka ogumu Omwana ono kigambibwa okuba […]

Kaihura awaabiddwa lwa butambi

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura akubiddwa mu mbuga z’amateeka ku bigambibwa nti yeeyingiza mu nsonga za Kibiina kya NRM. Munnakibiina kya NRM Rodgers Besigye,ayagala ebikolwa bya Gen Kaihura binonyerezebwaako era abonerezebwe. Besigye agamba nti mu mwezi gw’okuna, Kaihura aliko omuvubuka wa NRM Alex Kasirivu […]

Kirumira akyanonyerezebwaako

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Eyali akulira poliisi ye Nansana Mohammed Kirumira ssi wakudda ku mulimu okutuusa ng’amaze okunonyerezebwaako. Aduumira poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti Kirumira akyanonyerezebwaako era nga tekiba kituufu kumuleka ate ng’akola emirimu. Ebigambo bya Kaihura biddiridde okwemulugunya okuva eri omubaka Joseph SSewungu ku kya Kirumira obutava […]

Omupoliisi agambibwa okusomola ebyaama ezzeeyo e Luzira

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Omusirikale wa poliisi agambibwa okusomola ebyama ku teepu ebya ssabapoliisi w’eggwanga asindikiddwa ajira abeera ku alimanda e luzira.  Kino kiddiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu  Lino Anguzo okusabayo akadde akalala okwekenenya okwewozaako okwawebwayo bannamateeka w’omusirikale abakulembeddwamu  Vincent Mugisha Ronald Poteri’s awakanya enyingo ey’okuna mu teeka erikwata […]

Obuwumbi 12 poliisi zeyeetaaga okulwanyisa obutujju

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Poliisi yeetaga obuwumbi 12 okulwanyisa obutujju mu ggwanga n’emisango gy’ebusukka nsalo. Bwabdde ayanjula embalirira ya poliisi ey’omwaka gw’ebyensimbi  2014/15 eri akakiiko ka palamenti ak’ebyokwerinda, Rogers Muhirwa nga ye muwandiisi wa ministry w’ensonga zomunda mu ggwanga agamba ssente zino zakuyamba mu kuketta obulumbaganyi bwonna nga tebunabaawo. […]