Amawulire

Etteeka ku mukenenya liyise

Ali Mivule

May 13th, 2014

No comments

HIV victims

Palamenti kyaddaaki eyisizza ebbago ly’etteeka elikaliga abo abasiiga banaabwe obulwadde bwa mukenenya mu bugenderevu.

Kiddiridde okukubaganya ebirowoozo ku bbago lino ng’ababadde basing okuliwakanya beebebibiina byobwa nnakyeewa

Kati omuntu anasiiga munne siriimu mu bugenderevu wakusibwa emyaka 10 oba okuwa engassi ya bukadde butaano oba byombi.

Akawaayiro kano keekabadde kasinga okusimbirwa ekkuuli bannakyeewa.

Etteeka lino era lirimu akawaayiro nga waliwo ensimbi eziweza ebitundu 2 ku kikumi ezigenda okusalwa ku bintu ng’omwenge, n’eby’okunywa ebirala omuli n’amazzi zidde mu nsawo eno anayamba okulwanyisa siriimu obutayimirira ku bagabirizi ba buyambi bwokka.