Amawulire

Amerika yeyamye ku Balwadde ba Siriimu

Ali Mivule

May 16th, 2014

No comments

Yadde nga Uganda yayisa etteeka eriwera ebisiyaga,gavumenti  ya Amerika yakusigala nga ekyateeka ensimbi mu pulojekiti ezirwanyisa ekirwadde kya Siriimu mu ggwanga. Omu ku bakungu okuva ku kitebe kya Amerika wano mu ggwanga  Daniel Travis wabula agamba nti etteeka lino lirina okusomozebwa kwamanyi eri enzirukanya y’emirimu […]

Bannasayansi Bafunvubidde Ku Ddagala Lya Siriimu

Ali Mivule

May 16th, 2014

No comments

Abanonyereza ku ku kirwadde kya siriimu bategezezza nga bwebasenvudde mu kuzuula eddagala erinawonya mukenenya ono. Okusinziira ku akulira amattendekero aganonyereza ku siriimu ono mu ggwanga ekya  National Institutes of Health, Uganda, Steven Reynolds, waliwo eddagala erikyagezesebwa mu ggwanga lya Thailand eriyitibwa RV 144 nga likolera […]

Ab’e kalangala babanja Kidyeri

Ali Mivule

May 16th, 2014

No comments

  Ab’obyinza ku bizinga bye Kalangala bemulugunya ku kidyeri kyaabwe ekyatwalibwa okukanikibwa e Mwanza mu Tanzania wabula nga n’okutuusa kati tekinadda. Omubaka wa  Bujumba Fred Badda agamba ebyobusuubuzi mu kitundu kino bikalubye kyokka nga tebamanyi ddi kidyeri kino lwekinakomezebwawo. Ono asabye ministry ekola ku by’entambula […]

Okuwandiisa abantu- abamu bakaaba

Ali Mivule

May 15th, 2014

No comments

Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga alagidde minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu gggwanga okunyonyola mu mivuyo egyetobese mu kuwandiisa abantu okufuna endaga muntu Kiddiridde omu ku bababaka Martin Drito kutegeeza ng’abantu be okuva e Madi bwebakyusiddwa nebayitibwa abalugwaala ate ng’aba madi balambikibwa bulungi mu […]

Omusibe afiiridde mu kadukuulu- aba poliisi bakwatiddwa

Ali Mivule

May 15th, 2014

No comments

  Akulira poliisi ye Kyengera n’anonyereza ku buzzi bw’emisango bakwatiddwa nebaggalirwa Bano ekibakwasizza musibe eyafiiridde mu kaduukulu ka poliisi gyebatwaala Abakwatiddwa ye Jackson Mawumbe ne Edison Karuhanga Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti bano babaggalidde ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso. Enanga agamba nti bagaala kukakasa […]

Ebizimbe bitaano biggaddwa

Ali Mivule

May 15th, 2014

No comments

Ebizimbe bitaano biggaddwa lwa bujama. Abakoseddwa kuliko aba Kyadondo rugby grounds, Lugogo cricket oval, Nateete shopping Centre n’ebirala. Ayogerera ekitongole kya kampala capital city authority,Peter Kawujju atubuulidde nti baludde nga balabula bannanyini bizimbe bino nga mpaawo yenyeenya era nabo bwebatyo kwekubiggala. Ebizimbe ebigaddwa tebibadde na […]

Bukenya awagira wa DP Nabukenya

Ali Mivule

May 15th, 2014

No comments

Okuddamu okulonda omukyala we Luweero kweyongeddemu ebbugumu Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prf Gilbert Bukenya olwaleero naye alangiridde nga bw’agenda okuyiggira owa DP Brenda Nabukenya akalulu. Bukenya agambye nti egend akwolekera Luweero awagire aba DP yadde nga wa NRM Bbo abavuganyamu Lukiiko olukulu olw’eggwanga ensonga ze […]

ogwa Ssewungu ku byenjigiriza gwa wiiki ejja

Ali Mivule

May 15th, 2014

No comments

Kooti etaddewo nga  May 25th okusalawo oba okusoma embalirira y’eggwanga eya 2015/2016 kugende maaso oba nedda. Kino kiddiridde omubaka wa Kalungu  Joseph sewungu okuddukira mu kooti eno nawawabira ssabawolereza w’eggwanga nga ayagala okusomebwa kw’embalirira eno kuyimirizibwe oluvanyuma lwa gavumenti okukendeeza ku nsimbi zeteeka munkola yabonna […]

Pulezidenti alabuddwa ku tteeka lya siriimu

Ali Mivule

May 15th, 2014

No comments

Bannabibiina ebirwanirira eddembe ly’abantu abawangaala ne siriimu balina essuubi nti omukulembeze w’eggwanga yandyekuba mu kifuba natateeka Mukono ku teeka lya siriimu nga terinakolebwamu nongosereza ezeetagisa. Omukwanaganya w’ekibiina ekigatta abasajja abawangaala ne siriimu  Richard Sserukuuma agamba nti enyingo 41 mu teeka lino yebabobya emitwe nga evunaana […]

Aba Kaciita bawadde ebiroowozo ku bya sigala

Ali Mivule

May 14th, 2014

No comments

Abasuubuzi wansi w’ekibiina kya KACIITA bagaala nnongosereza mu bbago ly’etteeka erinakoma ku banywa sigala Abasuubuzi bano nga bakulembeddwaamu abakulira Everest Kayondo balabiseeko mu palamenti nebawa ebirowoozo ku bbago lino Kayondo agamba nti mu buwaayiro bwebawakanya mwemuli eky’obutalanga sigala kubanga kijja kukosa abasuubuzi Wabula Kayondo awagira […]