Amawulire

Okuwandiisa abantu- abamu bakaaba

Ali Mivule

May 15th, 2014

No comments

ID registration

Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga alagidde minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu gggwanga okunyonyola mu mivuyo egyetobese mu kuwandiisa abantu okufuna endaga muntu

Kiddiridde omu ku bababaka Martin Drito kutegeeza ng’abantu be okuva e Madi bwebakyusiddwa nebayitibwa abalugwaala ate ng’aba madi balambikibwa bulungi mu ssemateeka

Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima alagiddwa okukola ekiwandiiko ekilambulula ebigenda mu maaso

Okuwandiisa abantu kukyagenda mu maaso yadde ng’awamu tekutandikanga olw’ebbula ly’ebikozesebwa.