Amawulire

Abazadde Balabuddwa obutafumbiza Batanetuuka

Ali Mivule

May 23rd, 2014

No comments

  Nga Uganda yegasse kunsi yonna okukuza olunaku lw’obulwadde bw’okutonya mu bakyaala, abazadde baweereddwa amagezi okwewala okufumbiza  bawala baabwe nga tebanetuuka. Okusinziira ku kunonyereza kw’ebyobulamu okwakolebwa mu 2011,omuwala omu ku bana  wakati w’emyaka 15 ne 19 wano mu ggwanga aba lubuto n’omwana we asooka nga […]

Nabukenya azzeeyo mu palamenti

Ali Mivule

May 23rd, 2014

No comments

Munna DP Brenda Nabukenya awangudde akalulu k’omubaka omukyala owe Luweero. Nabukenya awangudde munne bwebabadde basing okubeera ku mbiranye. Nabukenya afunye obululu 38,582 ate Nalwanga n’afuna obululu 22,236. Faridah Namubiru afunye obululu 717 ate Ramula Kadala n’afuna obululu 758. Omuwanguzi alangiriddwa akulira eby’okulonda e Luweero, alex […]

Parambot eggaddwa

Ali Mivule

May 22nd, 2014

No comments

Ekitongole ekiwooza olwaleero kigadde kkampuni ensogozi y’omwenge eya Parambot Breweries. KKampuni esangibwa Kitetikka ku lwe Gayaza Bano bagamba nti kkampuni eno egibanjibwa emisolo egisoba mu buwumbi 2 era nga baludde nga bababanja naye nga tebekyuusa. Allan Ssempebwa nga ono yakulembeddemu ekikwekweto kino, atubuulide nti bano bamaze ebbanga […]

Nabukenya ne Nalwanga bamaze okulonda- akavuyo katandise

Ali Mivule

May 22nd, 2014

No comments

Munna DP Brenda Nabukenya ne munna NRM Rebecca Nalwanga bamaze okulonda.   Bano balondedde mu kifo kimu ekya St Jude era wano beesiseeko mu mikono.Nabukenya wabula agamba nti atidde olw’enkalala ezitategerekeka ate nga yye Nalwanga agamba nti abalonzi abamu obutaba ku nkalala kimweralikirizza.Ab’akakiiko akalondesa ne […]

E Luweero Kulonda

Ali Mivule

May 22nd, 2014

No comments

  Okuddamu okulonda omubaka omukyala mu district ye Luweero kutandise namiuyo mu bitundu ebimu. Kino kiddiridde abamu ku balonzi okusanga nga amanya gaabwe tegali ku nkalala z’abalonzi. Olwokaano mulimu abantu bana okuli munnaDP  Brenda Nabukenya, Munna NRM  Rebecca Nalwanga n’abesimbyewo kulwabwe okuli  Faridah Namubiru ne […]

Omukyala asse omwana we

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Omukyala asse omwana we lwakugaana kwooza bintu Anifa Adeke nga wa myaka 25 mutuuze we Kyaliwajjala ng’omwana we gw’asse ye Erina Namboozo. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti omukyala ono bamaze okumukwata era ng’agenda kuggulwaako misango gya ttemu

Bakazi baggya abalwaanye bakaligiddwa

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Kkooti eriko bakazi baggya babiri beevunaanye lwa kulwanira musajja Abakazi bano okuli Justine Nantume ne Florence Jaruwa basimbidwa mu maaso g’omulamuzi w’edaala  erisooka ku kkooti ya city hall Erias Kakooza. Emisango gino tebagyegaanye Bano kkooti ebasingisizza emisango era buli omu n’emulagira okukola bulungi bwansi okumala […]

Poliisi yetegekedde Luweero

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Ng’ebula ssaawa ntono abe Luweero balonde omubaka omukyala omuggya, abatunuulizi b’eby’okulonda basabiddwa obutasukka webalina kukoma Ebibiina bingi bitaddewo abatunuulizi b’eby’okulonda nga n’abamu baavudde wano kampala Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Luweero, Lameck Kigozi agamba nti tebagenda kugaana Muntu yenna kulondoola kulonda kati anagoberera amateeka […]

Bbomu zisse abantu 17 mu Nigeria

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Obulumbaganyi obulala obukoleddwa mu ggwanga lya Nigeria bulese abantu 17 nga bafudde Kino kibaddde ku kyaalo Alargano  mu bukiikakkono bwa Nigeria nga kino kiri kumpi n’ekyo ekyawambibwaako abawala abasoba mu 200. Obulumbaganyi buno buzze ng’obulumbaganyi obulala mu kibuga Jos bwakatta abantu 118. Mu bulumbaganyi buno […]

AKabenje katuze 2

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akagudde e Mbiriizi ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Ekimotoka ekisomba amata No. UAU 474B kiyingiridde motoka ntono kika kya Mark 2 No.UAN 161N Omogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjogi agambye nti mu bafudde mwemubadde omusuubuzi […]