Amawulire

Amerika yeyamye ku Balwadde ba Siriimu

Ali Mivule

May 16th, 2014

No comments

aids

Yadde nga Uganda yayisa etteeka eriwera ebisiyaga,gavumenti  ya Amerika yakusigala nga ekyateeka ensimbi mu pulojekiti ezirwanyisa ekirwadde kya Siriimu mu ggwanga.

Omu ku bakungu okuva ku kitebe kya Amerika wano mu ggwanga  Daniel Travis wabula agamba nti etteeka lino lirina okusomozebwa kwamanyi eri enzirukanya y’emirimu mu by’obulamu.

Agamba nti obukadde bwa doola  323  bwakusigala nga buwerezebwa kawefubwe w’okulwanyisa siriimu ono.Ensimbi zino 60% zakugenda eri kujanjaba bawangaala ne siriimu ono ate 40% zigende eri enkola z’okutangira  siriimu nga okukomola abaami n’ebirala.