Amawulire

Ab’e kalangala babanja Kidyeri

Ali Mivule

May 16th, 2014

No comments

 

ferry

Ab’obyinza ku bizinga bye Kalangala bemulugunya ku kidyeri kyaabwe ekyatwalibwa okukanikibwa e Mwanza mu Tanzania wabula nga n’okutuusa kati tekinadda.

Omubaka wa  Bujumba Fred Badda agamba ebyobusuubuzi mu kitundu kino bikalubye kyokka nga tebamanyi ddi kidyeri kino lwekinakomezebwawo.

Ono asabye ministry ekola ku by’entambula okwanguwa okubakomezaawo ekidyeri kyabwwe kubanga abatuuze babonabona.

Wabula ye minister omubeezi akola ku by’entambula  Eng John Byabagambi gyebuvuddeko yasabye abantu bano okubeera abakakamu kubanga ekidyeri kyakudda ku nkomerero y’omwezi guno.