Amawulire

tetujja kukoma kusaba ttofaali

Ali Mivule

May 16th, 2014

No comments

Katikkiro in Bugerere

Katikkiro wa Buganda owek Charles Peter Mayiga avudde omwaasi ku balumba Buganda ku nsonga y’ettofaali

Kiddiridde abantu okutandika okubisoma nga Buganda bw’eyitirizza okusaba ensimbi z’otafaali.

Katikkiro agamba nti ebigambo bino kawefube yenna ow’enkulakulana abaamu aboogezi wabula nga kino tekigenda kumujja ku mulamwa.

Bino Kamala byonna abyogeredde ku mukolo gw’okutongoza enkolagana wakati wa Buganda ne kkampuni ya Airtel nga kati abantu bajja kusobola okutoola ettofaali nga bayita mu nkola ya Airtel money.