Amawulire

2016:Kadaga ali mu mwanjo

Ali Mivule

May 19th, 2014

No comments

Kadaga

Abakyala mu bibiina by’obanakyewa basembye okunonyereza okwafulumidde mu lupapula lwa Daily Monitor okwalaga nga sipiika wa palamenti  Rebecca Kadaga ne muk’omukulembeze w’ggwanga Janet Museveni  bwebali ku mwanjo mu kuddira mu bigere bya Presidenti Museveni.

Okunonyereza kuno kwakolebwa olupaopula lwa Daily Monitor n’omukago ogugatta ebibiina by’obwanakyewa nga era kwakulemberwamu ab’ekibiina ekikola okunonyereza munsi yonna aba Research World International mu mwezi ogwokuna omwaka guno mu district 98.

 Akulira ekibiina kya  Regional Associate for Community Initiative Lina Zedriga agamba ebyava mu kunonyereza biragira ddala nti Uganda netegefu okubeera ne pulezidenti omukyala.

Ebyavudde mu kunonyereza kuno bwakufulumizibwa mu butongole mu lukungaana lw’abannamawulire olunaku olaleero.