Amawulire

Olukungaana lw’abawagizi ba Mbabazi luyimiriziddwa

Ali Mivule

May 19th, 2014

No comments

Mbabazi and wife

Poliisi erinye eggere mu lukungaana lw’abavubuka ba NRM e Kayunga.

Olukungaana luno lubadde lwakukubirizibwa mukyala wa ssabaminister w’eggwanga  Jackeline Mbabazi.

Akulira abavubuka bano, Swaibu Aliga agamba nti poliisi bagiteegeeza bukyaali era nga babadde tebasuubira kutataaanyizibwa.

Olukungaana luno welujidde nga wakyaliwo okusika omugwa wakati w’ebiwayi bw’abavubuka mu kibiina kya NRM naga abamu bawagira president Museveni yesimbewo yekka mu kamyufu ka NRM mu 2016 nga abalala bawagira ssabaminister Amama Mbabazi.