Amawulire

Ebya Kanyeihamba okuwaaba bitukubye wala- Bakiwaji ba NRM

Ali Mivule

May 16th, 2014

No comments

Ababaka abagobwa mu kibiina kya NRM bagamba nti kibakubye wala okuwulira nti eyali omulamuzi George Kanyeihama abakubye mu mbuga z’amateeka.

Prof Kanyeihamba yasazeewo okuwaaba ababaka bano ng’ayagala bamusasule obukadde 300 lwakuwoza misango gyaabwe

Ababaka aboogerwaako kuliko Theodore Sekikuubo, Mohammed Nsereko, Wilfred Niwagaba ne Barnabas Tinkasimire .

Omubaka Theodre Ssekikubo agamba nti kituufu balagira Kanyeihamba okubakiikirira mu kusooka era nga bakumusasula akadde konna.