Amawulire

Bulange Plaza kati eyitibwa Masengere

Ali Mivule

May 17th, 2014

No comments

kATIKKIRO ARRIVES

Kamalabyonna wa Buganda owek Charles Peter Mayiga azzeemu okukikkatiriza nga bw’atajja kukolagana Muntu yenna atali mutangaavu mu by’akola.

Katikkiro okwogera bino abadde atikkula aba Multiplxe ettofaali lya bukadde 10 n’abantu abalala abaleese ettofaali.

Kamalabyonna agambye nti ekisinze okutta Buganda ne Uganda okutwaliza awamu beebakulembeze abatali beerufu naye nga kino kyakukyuuka ku mulembe guno.

Owek Mayiga agambye nti wakugenda mu maaso n’enkola ye ey’obweruufu era enagivaako bajja kuba bawuukanye.

Katikkiro era alangiridde erinnya eppya ery’ekizimbe kya Bulange Plaza nga kati kimanyiddwa nga Masengere.

Erinnya lino katikkiro agambye nti amakulu gaalyo wakuganyonyola ng’ennakuz ‘omwezi 17 omwezi ogujja.