Amawulire

Ebola basattizza

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

Wabaddewo akasattiro ku ddwaliro e Mulago, omuntu agambibwa okuba n’obulwadde bw’ebola bw’afiiruidde e Mulagi   Joseph Lukyamuzi mulenzi wa myaka 13 nga y’afudde nga yakatuusibwa ku ddwaliro e Mulago   Omwana ono agyiddwa Katende Masaka ngasesema omusaayi ngafudde eddakiika 15 nga yakatuusibwa mu ddwaliro e […]

Bana battidwa

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

Kubadde kwazirana ng’abantu b’omuka agamu baziikibwa ku Kyaalo kasenyi mu kidistrict ye Isingiro   Abana bano basasiriddwa masasi agabasse mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero   Abagenzi bategerekese nga  Kiiza Mpindi ssemaka, Mwanyina ow’emyaka 80, Nakato Nansubuga, Mutabani waabwe Nantindi Sumaili n’omukozi w’awaka Suti Katongole   […]

Ababaka beteemyemu

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga beetemyeemu ku bukadde obutaano ez’ebbago ly’etteeka ly’amaka n’okwaukana   Ababaka bonna bakuweebwa obukadde butaano oluvanyuma lwa president okulagira nti kibe ababaka okusobola okwebuuza ku balonzi ku bbago lino elisimbiddwa ennyo ekuuli bannadiini   Abali ku ludda oluvuganya gavumenti kuno bakuyise […]

Amataba e Bwaise

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

Enkuba ekedde okutonya mu bifo ebyenjawulo erese edobonkanyizza emirimu mu biseera ebimu. Embeera ebadde yeemu mu bitundu ebisinga okukosebwa enkuba omuli kaleerwe ne bwaise. Omubaka wa Kawempe south sebuliba mutumba agamba nti omwaala gwomunsooba gutaakiriza kumbeera , abantu obutakosebwa nyo. Wabula mutumba agamba nti singa […]

Bucha zakuggalwa

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

Nga paasika ekubye koodi, ekitongole kya KCCA kyaakuggala emidaala gy’enyama ezitawandiisibwa mu mateeka. Kino kidiridde ekitongole kyekimu okuggala bucha 4 nga zino zasangiddwa n’enyama envundu. Amyuka ebikwekweto mu KCCA, Robert Kalumba agamba nti bategeezezza ku bucha ezimeruka era nga bakungaanya amawulire agamala okutandika ebikwekweto. Kalumba […]

Ayokezza enju ye okugoba omusota

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

Embeera zabakyaala zisesa. Omukazi mu gwanga lya Amerika mu saza lya Texas akumye ku nyumba ye omuliro nga ayagal okwookya omusota ogubadde guyingidde munda. Nakyaala ono teyakaayanye namusota guno ogwaabadde gumuyingiridde, yasoobye mpola nafuna amafuta nagumansira, olwo najayo akabiriiti agwokye omukyomo naye tebyaagenze bulungi. Eyagenderedde […]

abanene bagobeddwa ku nyonyi

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

Bwooba omanyi nti osaaabalira kunyonyi wabula nga oli munene ekisukiridde wulira bino.   Mu gwanga lya Norway ,Waliwo ekiteeso ekyokusasuza ba namudigu nebasemudigu ensimbi ezisinga ku zaabanaabwe aba sayizi eyekigero .   Enteekateeka eno yaakusasuza omuntu ensimzi za ticket okusinziira ku buzito bwe nemigugu gyaatisse. […]

Okwerabira kuva ku ndya mbi

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

Abakugu mu byobulamu bakizudde nti omuntu obutaba na kirungo kizimba mubiri  kimuviirako obutakwaasa mangu bimusomesebwa mu kibiina n’okwerabirarabira. Bakagezi munyo bano okunonyereza kuno bakutadde mu kitabo ekimanyiddwa nga  writing in Nature Medicine, nga  bagamba nti baatunulidde   bantu abawera abeerabirarabira nebakizuula nti abasinga tebayina kiriisa […]

Abe Kyambogo balonda

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

Abayizi mu ttendekero ly’e Kyambogo balonda leero omukulembeze waabwe. Okusinziira ku akulira akakiiko k’ebyokulonda ku ttendekero lino,  Derrick Yiga, ebikozesebwa byonna bituuse mu budde. Yiga agamba nti baasabye abasirikale ba police abalala bongerwe ku ttendekero lino olw’okwewala obuvuyo bwonna. Okulonda kuno kutandise ku ssaawa 2 […]

Mugende mpola

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

  Mufti wa Uganda sheikh shaban Mubajje asabye ababaka ba parliament bagende mpola ku tteeka erirungamya abafumbo erya  marriage and divorce bill. Mubajje agamba nti etteeka lino likyalimu ebirumira bingi ebisaana okusooka okugonjoolwa. Mubajje okusaba kuno akukoledde Kamuli mu kulayiza district Kaddi omujja Ismail Kazibwe. […]