Amawulire
Bawamba abantu nebabatta
Abasajja 2 ababadde bawamba abantu nebabanyagulula ate nebabatta bakwatiddwa Robert Muwonge omuvuzi wa spesulo e Makindye ku petro city ne Sam Kitendwa beebakwatiddwa nga bagezaako okutta Samuel Ogwa okuva e Lira Kigambibwa okuba nga ababiri bano balina ogubinja gwebakolagana nagwo nga bawamba abantu kyokka ate […]
Ddikuula ku digi
Bano ba officer ba police ya amerika mu kibuga califonia baka. Bakutte diikula abadde avuga pikipiki ku sipiidi eyayiriyiri ate nga tayambadde helmet. Diikula abadde ayambadde nga akamyu asoose kubiyita byalusaago neba officer nabawamu akapela ka Easter, wabula kimubuuseko ba offiisa olumaze okuseka nebamu […]
Ballotelli taggwaayo
Omuzanyi womupiira Mario Balotelli tagwayo. Buli kiseera aba ayagala kukola bintu byaawukana ku byaabalala. Kuluno oluvanyuma lwomupiira gwebaazanye ne kirabu ya Verona, Balotelli yasazeewo kwesuubira mu nyonyi nga nkima. Bazannyi banne webaatadde emigugu gyaabwe, evvubuka lino lyo weryaasazewo okweebaka, era lyaagenze nga mugugu wakati […]
omubbi agudde mu kitimba
Omubbi abadde ava okukwakkula akasawo k’omukazi mu dduuka munda mu ggwanga lya Australia akigudeko. Olumaze okubba , sempala ono amasuse wabula naagwa mundabiraamu ezimukubye ekigwo ye zaaabadde ayita omulyango. Dala Kabwa kabbi kagumya mugongo kubanga obulumi tabuwulidde bwasituseewo neyeeyongerayo aleme kukwaatibwa. Abaduukirize basoose kumuyoolayoola nga […]
Omusamize akwatiddwa
Police e mubende ekutte sentebe w’abasamize lwa bubbi. Ssenganga Mpungu abanji gwebamanyi nga Jjaja Mpunguteryabire yakwaatiddwa oluvanyuma lw’embwa ya police enkonzi yolusu okutuusa abasirikale ba police mu makage ku kyaalo Katogo nebasangayo ebintu ebibbe . Okumukwaata, police ebadde ekola ebikweekweto oluvanyuma lwababbi abamenye amayumba […]
Omwana agudde mu kabuyonjo
Omwana ow’emyaka 2 agudde mu kabuyonjo n’afiirawo Omwana ono nyina ategerekese nga Hadijah Khalid Abatuuze ku kyaalo Nakitende e Igang awabadde akabenje kano bagamba nti omwana ono yeemuludde ku nyina ng’eno gy’agwiridde mu kinnya n’afiirawo. Poliisi ye Iganga eyitiddwa bukubirire okuyambako okujjayo […]
DP yekutuddemu-Mao agobye abamu
Ebya DP bikyaali biwanvu ng’ olwaleero ssenkaggale wekibiina Norbert Mao ayimirizza bunambiro omwogezi wekibiina Kenneth Paul Kakande nga ono alangibwa kwefuula nampulira zzibi nategeka tabamiruka wekiwayi kyabavubuka ekya Ono mungeri yeemu alabudde nomubaka omukyala akikirira district ye luweero Brenda nabukenya , sam muyizi, john mary ssebuufu […]
Odinga gumumezza, Uhuru ye Mukulembeze
Kooti mu ggwnaga lya Kenya ekakasizza Uhuru Kenyatta ku bukulembeze bw’eggwnaga lya Kenya Abalamuzi omukaaga abatuula ku kooti ey’okuntikko mu ggwanga lino bagaanye eky’okuddamu okubala obululu oba okubugatta nga Raila Odinga bweyali asabye. Eky’okusasula Odinga olw’ensimbi z’atadde mu kuwaaba nakyo kigaaniddwa Ebisingawo mu […]
Anobye lwa Mutaka mumpi
Abakyala abamu tebasaaga Ono asazeewo kukyaawa bba lwakuba na mutaka atawera Omukyaala ono amanyiddw anga Zhang wamyaka 52 ng’agamba nti omusajjja oo abadde tamuwa ssanyu Ono mu kootie taddeyo bujuliz bwa buwanvu bwa bba nga bwa centimeter 5. Omukyala ono era agambye nti yye ayagala […]
Natti zivuddewo
Ab’omukago gw abulaaya baggye natti ku bakungu 81 okuva mu ggwnaga lay Zimbabwe Kino kididiridde akalulu k’ekikungo akatabaddemu kavuyo mu ggwnaga lino nga bannanasi balonda ku ssemateeka w’eggwanga Kyokka ye kinvinvi Robert Mugabe, Natti zebamussaako zisigaddewo n’abayambi bbe abalala 10 Abakungu bano balai […]