Amawulire

Ebola basattizza

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

Ebola scare

Wabaddewo akasattiro ku ddwaliro e Mulago, omuntu agambibwa okuba n’obulwadde bw’ebola bw’afiiruidde e Mulagi

 

Joseph Lukyamuzi mulenzi wa myaka 13 nga y’afudde nga yakatuusibwa ku ddwaliro e Mulago

 

Omwana ono agyiddwa Katende Masaka ngasesema omusaayi ngafudde eddakiika 15 nga yakatuusibwa mu ddwaliro e Mulago.

 

Kino kitiisizza abakulira eddwaliro n’abali awatuukira abali obubi okukkakkana nga basibye ekifo kino nekifuuyirwa kyonna..

 

Wabula ng’awayaamu ne Dembe FM, akulira eddwaliro. Dr Baterana Byarugaba agambye nti kituufu omwana bamuleese asesema kyokka ng’afudde tebannaba kumwekebejja

 

Baterena era agamba nti mulambo gw’omwana bamaze okugukwasa banyini gwo kyokka nga babakuutidde okugoberera amateeka g’okuziika abalian ebola nga bwebagenda mu maaos n’okwetegereza okuzuula ekituufu ekiliwo