Olwali

Ayokezza enju ye okugoba omusota

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

house on fire

Embeera zabakyaala zisesa.

Omukazi mu gwanga lya Amerika mu saza lya Texas akumye ku nyumba ye omuliro nga ayagal okwookya omusota ogubadde guyingidde munda.

Nakyaala ono teyakaayanye namusota guno ogwaabadde gumuyingiridde, yasoobye mpola nafuna amafuta nagumansira, olwo najayo akabiriiti agwokye omukyomo naye tebyaagenze bulungi.

Eyagenderedde okwookya omusota yayokezzamu nyumba yonna neteta awatali kusigala kantu konna nga mwotwaalidde nenyumba ya muliraanwa..

Olwaabadde okukuma omuliro ku musota guno gwaatandise okweetolola enyumba yonna nga weguva wewakwaata omuliro okukakana ng’enyumba yonna ekutte omuliro.