Amawulire

Abe Kyambogo balonda

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

Kyambogo

Abayizi mu ttendekero ly’e Kyambogo balonda leero omukulembeze waabwe.

Okusinziira ku akulira akakiiko k’ebyokulonda ku ttendekero lino,  Derrick Yiga, ebikozesebwa byonna bituuse mu budde.

Yiga agamba nti baasabye abasirikale ba police abalala bongerwe ku ttendekero lino olw’okwewala obuvuyo bwonna.

Okulonda kuno kutandise ku ssaawa 2 ez’okumakya.

Abayizi basabiddwa okubeera abakkakamu mu kiseera ky’okulonda.

Abali mu lwokaano ye John Mugabi owa FDC, Doreen Ashaba, owa NRM,munna Democratic Party- Owen Matte ne Nicholas Bukenya eyeesimbyewo ku bwa namunigina.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *