Amawulire

Paasika- 71 bali ku bitanda, abazaaliddwa bali bulungi

Ali Mivule

April 6th, 2015

No comments

Abantu abasoba mu 71 beebali mu ddwaliro e Mulago oluvanyuma lw’okugwa ku bubenje ku lunaku lwa Easter jjo Bano bali awatuukira abayi era ng’abasinga obubenje baafunye bwa bodaboda Atwala waadi eno Marie Achakala agambye nti 21 ku bano balumbiddwa ate ng’abalala obubenje baabufunye batamidde nga […]

Omuliro mu kikuubo

Ali Mivule

April 6th, 2015

No comments

Wabaddewo vvaawo mpitewo mu kikuubo omuliro bwegukutte ekizimbe. Omuliro guno gubadde ku kizimbe kya Jaguar okuliraana oluguudo lwe Nabugabo Kigambibwa okuba ng’omuliro guno guvudde ku masanyalaze Twogeddeko era n’akulira poliisi enziinya mooto Joseph Mugisa n’ategeeza nga bwebasobodde okutuuka amangu era omuliro nebaguzikiza mu budde

Poliisi yakuzimbibwa awattirwa Kagezi

Ali Mivule

April 6th, 2015

No comments

Ssabapoliisi wa  Yuganda  Gen Kale Kaihura alagidde ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okuzimba okuzimba  mangu ddala poliisi enakwatagana n’omuntu wabulijjo mukifo wenyini awattirwa eyali omumyuka wa ssabawaabi w’emisango gya gavumenti Joan Kagezi Kaihura okwogera bino abadde akyaddeko e Najeera okumpi ne kkanisa ya St. Mbuga […]

Ssabasajja ayagalizza bannayuganda paasika ennungi

Ali Mivule

April 4th, 2015

No comments

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronala Muwenda Mutebi 11 ayagaliza abagoberezi ba Christo okwetolola eggwanga lyona amazukira ga Christo ag’esanyu n’emirembe. Olunaku olw’enkya abagoberezi ba Christo bakweyiwa mu masinzizo agenjawulo, okukuza olunaku lwa pasika okujukira amazukira ga Christo oluvanyuma lwokutufirira ku musalaba. Omutanda agambye nti abakiriza […]

Aba Alshabaaba baweze- tujja

Ali Mivule

April 4th, 2015

No comments

Banalukala ba Al- Shabab bazzeemu okulabula nga bwebagenda okutigomya amawanga ga East Africa. Mu kiwandiiko ekifulumidde ku mukutu gwa Al- Shabab, banalukala bano balabudde gavumenti ya Kenya nti abantu be basse babagulire keesi babaziike mangu, kubanga bagenda kutta abantu abalala. Aba Al- Shabab era balabudde […]

Abasuubuzi bavudde mu mbeera lwa munaabwe eyattibwa

Ali Mivule

April 2nd, 2015

No comments

Abasuubuzi mu katale ke Nakasero banyiivu olwakkooti okuyimbula abakulembeze b’akatale kano abatta munaabwe olw’empooza. Kino kiddiridde omulamuzi Lillian Buchana mukifo ky’okubasomera ekibonerezo oluvanyuma lw’okubasingisa omusango gw’okutta mu butanwa ate okubayimbula  balye butaala. Omulamuzi Buchana agamba  abavunaanwa bakkiriziganyizza n’abenganda z’omugenzi nebabaliyirira obukadde 10. John Seruyinda eyali […]

Lukwago bamugobye ku ttofaali lya KCCA

Ali Mivule

April 2nd, 2015

No comments

Wabaddewo okusika omugwa ku kitebe kya KCCA ku city hall oluvanyuma lw’omuloodi wa Kampala Erias Lukwago okugaanibwa okuyingira.   Lukwago abadde agenze kwegatta kwabo abaanirizza Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu kusonda ettoffaali ku kitebe kino.   Lukwago abadde awerekeddwako omubaka wa Rubaga North […]

Abatujju balumbye Kenya nate

Ali Mivule

April 2nd, 2015

No comments

Abantu 8 bafudde sso nga abalala 4 batuusiddwako ebisago  ebyamanyi oluvanyuma lwabamukwata mundu okulumba yunivasite emu mu ggwanga lya Kenya.   Wabaddewo okuwanyisiganya amasasi ku yunivasite ya Garissa e Kenya nga amagye g’eggwanga gagezaako okulwanagana n’abakambwe abagambibwa okuwamba abamu ku bayizi.   Ssabapoliisi w’eggwanga lya […]

Akabenje katuze musanvu e Jjinja

Ali Mivule

April 2nd, 2015

No comments

Abantu 7 bafiiridde mu kabenje akagudde ku kyalo Namasoga ku luguudo lwe Jinja.   Akabenje kano kavudde ku Taxi namba UAN 119F  eyingiridde ekimotoka ki lukululana. Abafudde kuliko n’omwana ow’emyezi 3 nga bbo 10 babuuse n’ebisago ebyamanyi.

Bbaale Francis afudde

Ali Mivule

April 2nd, 2015

No comments

Munnamawulire  Bbaale Francis afudde. Bbaale Francis abadde musomi w’amawulire ku UBC nga era y’omu ku baludde ku Tv eno. Omugenzi afiiridde mu ddwaliro ekkulu e Mulago ekirwadde kya kookolo wa kawago aludde nga amubala embiriizi. Bbaale w’afiiridde nga atendeka abasomo b’amawulire omulimu gw’akoledde ebbanga okuviira […]