Amawulire

Ssabasajja ayagalizza bannayuganda paasika ennungi

Ali Mivule

April 4th, 2015

No comments

Kabaka waves in kyaggwe

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronala Muwenda Mutebi 11 ayagaliza abagoberezi ba Christo okwetolola eggwanga lyona amazukira ga Christo ag’esanyu n’emirembe.

Olunaku olw’enkya abagoberezi ba Christo bakweyiwa mu masinzizo agenjawulo, okukuza olunaku lwa pasika okujukira amazukira ga Christo oluvanyuma lwokutufirira ku musalaba.

Omutanda agambye nti abakiriza balina okwetanira obumu wamu n’emirembe ngabakuza pasika.

Ssabasajja era avumiridde ebikolwa eby’okutta abantu n’emundu ebikyaase enyo ensangi zino, okwetolola eggwanga n’asaba ebitongole ebikuuma dembe okusitukiramu okulwanyisa ebikolwa ebino.