Amawulire

Poliisi yakuzimbibwa awattirwa Kagezi

Ali Mivule

April 6th, 2015

No comments

Joan Kagezi casket 2

Ssabapoliisi wa  Yuganda  Gen Kale Kaihura alagidde ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okuzimba okuzimba  mangu ddala poliisi enakwatagana n’omuntu wabulijjo mukifo wenyini awattirwa eyali omumyuka wa ssabawaabi w’emisango gya gavumenti Joan Kagezi

Kaihura okwogera bino abadde akyaddeko e Najeera okumpi ne kkanisa ya St. Mbuga awattirwa omugenzi, okwogerako n’abatuuze ku nsonga z’ebyokwerinda.

Kaihura agambye  nti poliisi okusobola okutuukiriza omulimo gwaayo esaana okufuna obuwagizi bw’abantu babulijjo okuviira ddala ku byalo, olwo eby’okwerinda bisobole okunyweera .