Amawulire

Aba Alshabaaba baweze- tujja

Ali Mivule

April 4th, 2015

No comments

kenya attacaks

Banalukala ba Al- Shabab bazzeemu okulabula nga bwebagenda okutigomya amawanga ga East Africa.

Mu kiwandiiko ekifulumidde ku mukutu gwa Al- Shabab, banalukala bano balabudde gavumenti ya Kenya nti abantu be basse babagulire keesi babaziike mangu, kubanga bagenda kutta abantu abalala.

Aba Al- Shabab era balabudde banansi ba East Africa obuteyibaala nti government zabwe zibawadde obukuumu kubanga bo balina obusobozi obulumba.

Kino kijjidde mu kiseera ngabatujju ba Al Shabaab bakalumba entendekero lya Garrisa mu ggwanga lya Kenya nebatta abantu 147, ate nebalumya abalala abasoba mu 70.

Mu kadde kano gavumenti ya Kenya yakakwata abantu bataano nga kigambibwa okuba nti balina kyebamanyi ku bulumbaganyi buno

Minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga etegeezezza ng’abamu ku bakwatiddwa bwebasangiddwa nga babuulira eggwanga lya Kenya okuddayo mu Somalia

Mu ttendekero nno erye Garissa, waliwo omuyizi anunuddwa ng’ono asangiddwa gy’abadde yekukumye okuva abatujju lwebalumbye

Omuwala ono ow’emyaka 19 asangiddwa nga yekweese mu Kabada era nga yadde amaggy g’eggwanga gegamujjeeyo asoose kugaana okutuuka omusomesa we lw’azze n’amukakasa nti tebabadde batujju

Olukiiko olugatta amawanga ga Africa olwa Inter parliamentary Union lutandise kawefube w’okubaga etteeka eryawamu erigenda okuyambako mu kulwanyisa obutujju.

Ababaka abatuula mu palamenti eno abagamba nti obutujju tebusosola mu mawanga, kale ng’amawanga ga Africa galina okwegatta okubulwanyisa.

Omukubiriza wa palamenti ya East Africa Daniel Kidega, agambye nti ababaka bwebatuula gyebuvuddeko, basalawo okwongera amaanyi mu kukuuma abantu babulijjo naddala abaana n’abakyala okulaba nga tebakolebwako butujju, naddala abatujju ba Boko Haram, ne Al Shabab.

Wano mu ggwanga Poliisi eywezeza ebyokwerinda ku nguudo eziyingira n’okufuluma eggwanga okutangira abatujju okulumba eggwanga nadala mu biseera bya pasika.

Ate abavubuka abasiraamu wano mu kibuga Kampala bavumiridde ebikolwa ekya banalukala ba Al Shabab okutta abantu mu ggwanga lya Kenya.

Bano ngabakulembeddwamu Ahmed Hajji bagamba nti ekikolwa ekyakoleddwa abatujju, sikya bwa Katonda kale ngakisaana okuvumirirwa.