Amawulire

Abatujju balumbye Kenya nate

Ali Mivule

April 2nd, 2015

No comments

Gumen attack Kenya

Abantu 8 bafudde sso nga abalala 4 batuusiddwako ebisago  ebyamanyi oluvanyuma lwabamukwata mundu okulumba yunivasite emu mu ggwanga lya Kenya.

 

Wabaddewo okuwanyisiganya amasasi ku yunivasite ya Garissa e Kenya nga amagye g’eggwanga gagezaako okulwanagana n’abakambwe abagambibwa okuwamba abamu ku bayizi.

 

Ssabapoliisi w’eggwanga lya Kenya  Joseph Boinett agamba abalumbaganyi bano batuuse basasirabusasizi masasi mu lujja lw’ettendekero lino.

 

Boinett agamba bayitiddwa okuyamba ku poliisi okutwalaganya abatujju  bano era n’asaba abantu bonna okusigala nga bakkakamu nga ebitongole ebikuuma ddembe bwebigenda mu maaso n’okulwanyisa abatemu bano.

 

Kenya okulumbibwa nga Uganda nayo kyejje erabulwe ku batujju ba Alshabaab abayinza okulumba.