Amawulire

Ssabalamuzi alabudde bannamateeka

Ali Mivule

April 10th, 2015

No comments

Ssabalamuzi w’eggwanga Bart Katureebe alabudde bannamateeka ku kunyunyunta abantu bebaweereza nga bagaala okugaggawala mu bwangu Katureebe agamba nti bannamateeka abamu batuuka n’okusaba emisango gyongerweeyo n’ekigendererwa ky’okwongeza mu nsimbi zebasaba Omukulu ono abadde ayogerera ku Lukiiko olutegekeddwa ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority n’ekibiina ekitaba bannamateeka […]

Makerere terina Kamera

Ali Mivule

April 10th, 2015

No comments

Ssabaduumizi wa poliisi gen Kale Kaihura olwaleero akyaddeko ku ttendekero lye Makerere okulaba ebintu nga bwebitambula era nekizuulibwa nti ettendekero lino teririna kamera za CCTV. Gen Kaihura agamba nti okubulawo kwa kamera zino kussaawo obuzibu obwamaanyi n’awa eky’okulabirako ky’obulumbaganyi obwaali e Kenya ku yunivasite ye […]

Abasumattuka kokoolo bagenze mu palamenti

Ali Mivule

April 9th, 2015

No comments

Waliwo ekibinja ky’abantu abaalwalako kokoolo abaddukidde mu palamenti nga basaba nti gavumenti etereeze eddwaliro erikola  ku balwadde ba kokoolo. Nga bayita mu kibiina kya Uganda women’s cancer Organisation, bano bagambye nti yadde wabaddewo okuseetuka, ddwaliro lino teririimu byuma bimala kuyamba balwadde. Akulembeddemu abantu bano omukyala […]

Abagambibwa okuba abatujju bakwatiddwa

Ali Mivule

April 9th, 2015

No comments

Wabaddewo akasambattuko ku luguudo olugata kasese ku Fortportal, police bwezinzeeko oluguudo okukwata emmotoka abadde eteberezebwa okubaamu bomu. Bino bibadde ku lutindo lwe Nyakasanga , era nga eno muno mu motoka poliisi ekukunuddemu abantu 4 abagambibwa okubeera abatujju nebatwala ku poliisi ye Kasese wakati mu bukuumi […]

Enkulungo ya Nantawetwa akwasiddwa obwakabaka

Ali Mivule

April 9th, 2015

No comments

Nga ebula ennaku 3 okutuuka ku mazaalibwa ga ssabasajja,ab’ekitongole kya KCCA baguddewo enkulungo ya Nantawetwa esangibwa wali ku luguudo lwa Kabaka Njagala oluvanyuma lw’okuyooyotebwa. Enkulungo eno eyitibwamu ssabasajja kabaka yekka Akulira emirimu mu KCCA  Jennifer Musisi agamba enkulungo eno esasanyiziddwako obuwumbi obusoba mu 3 kyaali […]

Abigenda mu maaso mu kkooti byakukwatibwa ku butambi

Ali Mivule

April 9th, 2015

No comments

  Essiga eddamuzi lyakutandika okukwata ebigenda mu maaso mu kuwoza emisango ku butambi. Kino kibukuddwa ssabalamuzi w’eggwanga omujja Bart Katureebe n’ategeeza nga bwekijja okuyamba okwekenenya ebikwata ku misango egitali gimu nga era kwakwanguyiza abalamuzi emirimu gyabwe.   Katureebe agamba eno yemu ku nteekateeka z’okulaba nga […]

Ab’omu kiyembe bakaaba misolo

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Abasuubuzi mu kibuga kampala basabye ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda revenue Authority okugereka emisolo nga basinziira ku bizinensi ki. Abasuubuzi okuva mu kiyembe beebakoze okusaba kuno bwebabadde basisinkanye abakugu okuva mu kitongole ekiwooza. Abamu ku basuubuzi betwogeddeko nabo bagamba nti emisolo gimala gagerekebwa gyebigweera nga gikosezza […]

Bannayuganda batubiridde mu Abudhabi

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Gavumenti esabiddwa okunonyereza ku bannayuganda 27 abagambibwa okuba nga baggaliddwa mu ggwanga lya Abu Dhabi Kiddiridde ensonga eno okuleetebwa omubaka we Rubaga mu bukiikaddyo John ken Lukyamuzi ng’agamba nto bano bakwatibwa poliisi yaayo era ng’omu ku bbo yafudde olw’endya embu Mu kwanukuula, ssabaminisita Dr Ruhakana […]

Abavunaanibwa obutujju bagenze mu kkooti enkulu

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Abaakwatibwa ku musango  gw’obutujju okuva wano mu Kisenyi basindikiddwa mu kkooti enkulu bavunaanibwe. Empapula ezongerayo bano mu kkooti enkulu ziweereddwayo omuwaabi wa gavumenti Esther Narungi. Okusinziira ku ssabawaabi wa gavumenti , baakuleeta obujulizi obulaga nti bano baali boogerageranya n’abakambwe ba Al shabab nga era baali […]

Mubonereze ababaka abatatuula mu palamenti

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga basabye omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu  okukangavvula ababaka ba palamenti  abebulankanya entakera mu ntuula za palamenti. Akulira ekibiina kya Anti Corruption Coalition Uganda Cissy Kagaba  agamba ababaka bano basasulwa omusimbi mungi kale nga basaana okuweereza eggwanga awatali kwebulankanya. Ono aweze nga […]