Amawulire

Abavunaanibwa obutujju bagenze mu kkooti enkulu

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Terror suspects again

Abaakwatibwa ku musango  gw’obutujju okuva wano mu Kisenyi basindikiddwa mu kkooti enkulu bavunaanibwe.

Empapula ezongerayo bano mu kkooti enkulu ziweereddwayo omuwaabi wa gavumenti Esther Narungi.

Okusinziira ku ssabawaabi wa gavumenti , baakuleeta obujulizi obulaga nti bano baali boogerageranya n’abakambwe ba Al shabab nga era baali bakwatagana n’akulira abatujju bano Adam Mohammed.

Okusinziira ku bujulizi , abavunaanwa baali baagala kutega bbomu mu Kampala ne Entebbe.

Bano kati bongeddwayo ku alimanda e Luzira okutuusa olutuula lwa kkooti olujja.

Bano kuliko banansi b’eggwanga lya Somalia 7 ne munnakenya omu.