Amawulire

Abavuganya bakungubagidde munnamateeka Murumba

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye atenderezza nyo omugenzi Wilfred Murumba nga ono y’abadde munnamateeka w’ekibiina kya FDC nga omuntu alwaniridde enyo obwenkanya. Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi ku ekeleziya ya  Christ the king amakya galeero, Besigye  ategezezza nga omugenzi Murumba bw;abadde ayimirira wo […]

Ensonga z’abasawo okukuba ekyeyo zituuse mu palamenti

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga alaze okwenyamira olwa gavumenti okulemererwa okunyonyola lwaki yesibiridde okuwereeza abasawo ebweru w’eggwanga okukuba ekyeyo Kadaga agamba nti bawandiikira dda minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga okubanyonyola ekigenda mu maaso kyokka nga kati guyise ne mu mwezi nga tebalabikako […]

Abakuuma amakomera betaaga kutendeka buto

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Abakuumi b’amakomera basaanye okuddamu okutendekebwa okusobola okukwasanga bulungi abazzi b’emisango bakiwagi. Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga  Gen Aronda Nyakairima agamba abakuumi bano tebafuna kutendekebwa kwakinamagye sso nga bakuuma abasibe abomutawaana. Aronda agamba bano baabulabe nyo eri abakuumi bano kale nga baaana baaana okuddamu okutendekebwa engeri y’okukwasaganya […]

Kwoyelo alina okwewozaako

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Kkooti yokuntikko eragidde eyali omuyekeera wa Kony nga ono ye  Thomas Kwoyelo avunanibwe mu kkooti enkulu ekola ku misango gy’ensi yonna. Abalamuzi 7 nga bakulembeddwamu  ssabalamuzi w’eggwanga  Bart Katureebe basazeewo nti ssabawaabi wa gavumenti yetongodde nga era asobola okulondawo ani owokuvunaana. Abalamuzi basazeewo nti ssabawaabi […]

E Bukomansimbi 10 bakwatiddwa lwa tooyi

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Abatwala ebyobulamu mu disitulikiti ye Bukomansimbi bakutte abantu 10 lwabutaba na kabuyonjo Bano bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ku byaalo bisatu mu disitulikiti ye Butenga Ebyaalo ebituukiddwaako kwekuli ekye Kabigi, Meru ne Mbaale. Atwala eby’obulamu mu gombolola ye Butenga Cyprus Kipaku  agamba nti abantu bangi ku […]

Tewali waterekebwa ddagala lya Kokoolo

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Minisitule y’ebyobulamu etegeezezz nga bw’etalina w’etereka ddagala ligema kokoolo wa nabaana Kokoolo wa nabaana y’asinga okukosa abakyala mu Uganda nga buli mwaka abakyala 2,464 bafa ate abali mu 3500 nebamufuna Minisita akola ku byobujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti bakyakola ku ky’okuzimba ekifo w’okutereka eddagala […]

Emmere enfu nyingi ku katale

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’ebyamaguzi kirabudde bannayuganda ku mmere eyiseeko eri ku katale ennaku zino Akulira ekitongole kino  Ben Mayindo agamba bakizudde nti emmere elongoseddwa nepakirwa nga kwotadde n’erimirwa kuno bweyitako ennaku wabula ate netundibwa eri bannayuganda kyagamba nti kyabulabe eri obulamu bw’abantu. Manyindo era […]

Amateeka ku bbaala e Lwengo

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Ab’ebyokwerinda mu bukiika ddyo bw’eggwanga bayisizza amateeka amakakali eri amabaala n’abazanya puulu mu disitulikiti ye Lwengo.   Aduumira poliisi mu kitundu kino  Maxwell Ogwal y’ayisizza amateeka gano mu lukiiko lw’ebyokwerinda mu disitulikiti ye Lwengo oluvanyuma lw’abatuuze okwekubira enduulu eri poliisi ku buzzi bw’emisango obususse.   […]

Envunza zirumbye ebe Nakapiripirit

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Abantu abasoba mu 800 mu disitulikiti ye  Nakapiripirit batambula babebera oluvanyuma lw’envunza okulumba ekitundu.   Ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko  Namalu, Loregae, Kakomogole ne Nakapiripirit town council nga eno abasinga bayimba mabebere mpa ku nvunza. Oku ku bannakyewa mu by’obulamu ku kyalo  Kakomogole nga ono ye […]

Ka semufu kamusse

Ali Mivule

April 6th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya argentina, omusajja eyelippye ku ka ssemufu n’awaya nako akaboozi k’ekikulu agudde eri n’afa Ka semufu kano asoose ku kakola n’akasiiga ne lipstick ku mimwa kko n’okukambaza wiivu era neyekola ekigenyi Kigambibwa okuba nti ka semufu kano kabaddemu empiso mu bigoye ebyakakoze era […]