Amawulire
basse ababbi ba piki
Abatuuze be Seeta mu kibuga kye Mukono bakidde abasajja babiri nebabateekera omuliro abasubirwa nti babadde babbye pikipiki. Aba BodaBoda okuva mu bitundu bye Kyaliwajjala bazze bagoba ababbi bano okuyita e Namugongo, Ssonde okutuuka e Bukerere gyebabakwatidde nebabakuba kko n’okubatekera omuliro Poliisi w’etuukidde nga bano baakaze […]
Buganda efunye ebyaayo e Buddu
Bannamaggye mu ssaza lye Buddu baziza ettaka kwebabadde bakolerera emirimu gyabwe eri obwakaba bwa Buganda. Ettaka lino lisangibwa mu kitundu kye Katwe -Saaza mu disitulikiti ye Masaka. Ettaka lino liriko n’ekizimbe ekigenda okutandika okukozesebwa nga ofiisi y’omwami wa Ssabasajja owa Mituba- Mukaga Jude Muleke. Akulira […]
Okuyamba Nankabirwa- ensimbi ziweze
Abantu abatali bamu bakyagenda mu maaso n’okweyiwa ku serena mu kawefube w’okusonda ensimbi z’okujjanjaba munnamawulire Rosemary Nankabirwa Nankabirwa alina kokoolo era ng’embeera ye teyeyagaza ku ddwaliro lya kokoolo gy’ali Mu kawefube ono, abakozi ba NTV begattiddwaako bannamawulire abalala n’abantu ba bulijjo okwooza emmotoka nga gwebooleza […]
Mabira atandise okudda engulu
Ekibira kya Mabira kiweddeko abantua baali bakyesenzaako Kino kyazuuliddwa ababaka ba palamenti abalambudde ekibira kino Nga bakulembeddwaamu ssntebe waabwe Michael Werikhe, ababaka bano bagambye nti n’ebifo ebyaali bikaze nga temukyaali miti nabyo bijja bitereera ng’ekibira kino kyakuddamu okukwata Minisita akola ku byobutonde bw’ensi Ephraim Kamuntu […]
Enteekateeka z’amazaalibwa ziwedde
Katikiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga olwaleero ategeezezza obuganda ng’enteekateeka z’amazaalibwa ga Ssabasajja ag’emyaka 60 egy’obuto bweziwedde. Owek. Mayiga agambye nti n’emikolo gyonna egigenda okukulembera amazaalibwa gano giwedde omuli n’okutegeka empaka z’obugaali,okukola bulungi bwansi, mu divizoni ye Lubaga, olunaku lw’enkya zonna ziwedde. Kamalabyonna era […]
KKapa eguumye omuceere
Mu ggwanga lya Japan ka kkapa akawoomerwa omuceere okira emmese kasizza abantu enseko. Ka kkapa kano kakeera kuguuma ku kyuuma ekifumba omuceere nga kati tekyakyazannya Kano nno omuceere gakuliirako nakati
Akabenje mu Morocco katuze 31
Abantu 31 bafiridde mu kabenje wakati wa bus ne loole mu ggwanga lya Morroco era ngabasinze okuffa babadde baana basomero ababadde bava mu misinde gy’empaka. Abantu abalala 9 balumiziddwa mu kabenja kano akagudde mu kibuga ekimanyiddwa nga Tan-Tan, ekisangibwa mu maseregenta g’eggwanga lino. Okunonyereza kulanga […]
Aba NRM bawagidde Kuteesa
Abakulembeze b’ekibiina kya NRM mu disitulikiti ye Sembabule basembye omubaka we Mawogola Sam Kuteesa yesimbewo awatali amuvuganya mu kulonda kw’omwaka ogujja nga ssentebe w’ekibiina kyabwe mu district eno. Bano era bamusembye yesimbewo ku bubaka bwa Mawangola ngatevuganyiziddwa. Mu nsisinkano gyebabaddemu mu maka ga Kuteesa, bano […]
Owa bakyala abavuganya gugobeddwa
Kooti enkulu wano mu Kampala egombye omusango gw’abakyala 19 okuva mu bibiina ebiwakanya government, abawawabira abasirikale ba poliisi ngababalumiriza okubambula mu lujudde ly’abantu. Abakyala bano ngabakulembeddwamu akulira abakyala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe babadde bagala abasirikale okuli Grace Turyagumanawe, Moses Kafeero, Judith Nabakoba, Grace […]
Abantu bakoowa okulonda
Ebibiina by’obwanakyewa bisabye akakiiko k’ebyokulonda okutema empenda okulaba nga ng’abalonzi mu kalulu ka 2016 beyongera. Okunonyera kulaga nti bana uganda ebitundu 42% baazira okulonda kya 2011, era ng’omuwendo gw’abantu abalonda guze gukengera okuva mu mwaka gwa 1996. Akulira ebibiina kya Citizens Coalition for Electoral Democracy, […]