Amawulire

Enteekateeka z’amazaalibwa ziwedde

Ali Mivule

April 10th, 2015

No comments

Kabaka atudde Ntende

Katikiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga olwaleero ategeezezza obuganda ng’enteekateeka z’amazaalibwa ga Ssabasajja ag’emyaka 60 egy’obuto  bweziwedde.

Owek. Mayiga agambye nti n’emikolo gyonna egigenda okukulembera amazaalibwa gano giwedde omuli n’okutegeka empaka z’obugaali,okukola bulungi bwansi, mu divizoni ye Lubaga, olunaku lw’enkya zonna ziwedde.

Kamalabyonna era agambye nti emisinde gya Ssabasajja egigenda okubeerawo nga 12 ku ssande gimaze okutegekebwa era nga gyakusibulwa Ssabasajja okuva ku lubiri e Mengo.

Mayiga era agambye nti  eby’okwerinda byongeddwamu amaanyi era nga Ssabaduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura yamaze dda okusindika basajja be e Mengo okwekenenya embeera.

Mayiga asabye abantu ba Ssabasajja abagenda okujja ku Bulange okugondera amateeka g’ebyokwerinda, okwewala okutataganyizibwa.