Amawulire

Owa bakyala abavuganya gugobeddwa

Ali Mivule

April 10th, 2015

No comments

ingrid breasts

Kooti enkulu wano mu Kampala egombye omusango gw’abakyala 19 okuva mu bibiina ebiwakanya government, abawawabira abasirikale ba poliisi ngababalumiriza okubambula mu lujudde ly’abantu.

Abakyala bano ngabakulembeddwamu akulira abakyala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe  babadde bagala abasirikale okuli Grace Turyagumanawe, Moses Kafeero, Judith Nabakoba, Grace Akulo n’abalala bagombwe mu poliisi ngabagamba nti bano babambula wamu n’okubafuyira omukka ogw’obutwa ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda mu mwaka gwa 2010.

Bano bakwatibwa nga bekalakasa, ngabawakanya ssentebe w’akikiiko k’ebyokulonda Eng Badri kigundu wakati mu kwetegekera okulonda kwa 2011.

Wabula omulamuzi wa kooti enkulu  Benjamin Kabiito agambye nti bano balemererwa okuleeta ebaluwa z’abasawo ezikakasa nti ddala bafuyirwa omukka gw’obutwa, okusobola okubaliyirira.