Amawulire

Buganda efunye ebyaayo e Buddu

Ali Mivule

April 11th, 2015

No comments

Bannamaggye  mu ssaza lye Buddu baziza ettaka kwebabadde bakolerera emirimu gyabwe eri obwakaba bwa Buganda.

Ettaka lino lisangibwa mu kitundu kye Katwe -Saaza mu disitulikiti ye Masaka.

Ettaka lino liriko n’ekizimbe ekigenda okutandika okukozesebwa nga ofiisi y’omwami wa Ssabasajja owa  Mituba- Mukaga Jude Muleke.

Akulira eggye ezibizi e Masaka Major Twaha Ssenyonga agambye nti basobodde okuwaayo ettaka lino, okusobozesa Ssabasajja wamu n’abaami be okutambuza obulungi emirimu.

Ye omwami wa Ssabasajja Jude Muleke yeebazzizza bannamaggye okukiriza okuwaayo ettaka lino.

Ye amyuka Pokino  Kisozi John agambye nti ettaka lino bagenda kulikozesa okukulakulanya Obuganda.