Amawulire
Afiiridde mu mpaka za Waragi
Omuntu omulala afiiridde mu mpaka z’okunywa waragi e Lwengo. Gerald Kamulegeya akanuse oluvanyuma lw’okuwakanira eccupa za waragi 6 ku kyalo Kanoni. Kigambibwa nti Kamulegeya abadde awunzika eccupa y’omukaaga n’atondoka n’afa. Kitegerekese nti Kamulegeya ono okwetaba mu mpaka z’okwekamirira waragi alina ebbaala gyeyasoose n’ayiwamu obuccupa […]
Ebye Nakivubo bituuse mu palamenti
Abakubi b’ebikonde n’abantu abalala abegattira mu kibiina kya Kampala Boxing Club bateekateeka kukwanga palamenti kiwandiiko okulaba nga enonyereza ku bigambibwa nti ekisaawe ky’e Nakivubo webasimbye amakanda kyaweereddwawo eri bamusiga nsimbi. Wiiki eno omukulembeze w’eggwanga y’alagira minisitule y’ebyenjigiriza okukyuusa amanya g’obwananyini bw’ekisaawe kino okudda mu […]
Ekisakaate kitongozeddwa
Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda ayongedde okuggumiza obukulu bw’ekisaakaate ekitegekebwa mu Buganda naddala ku mutendera ogw’amasaza ng’essira erisooka kwekunnyikiza empisa ez’omuganda ennono n’obuwangwa bw’abaganda. Bino bibadde mu bubaka bwe bw’atisse omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Nelson Kawalya bw’abadde aggulawo ekisakaate ky’amasaza ekyomulundi ogw’ekkumi wali […]
Abasuubuzi e Wandegeya mu katale beekalakaasizza
Abasuubuzi mu Katale ke Wandegeya batanudde okwekalakaasa lwa kumala nnaku nga tebarina masanyalaze. Bano bagamba baakamala ennaku 3 nga tebarina mazzi kati ate baabasazeko n’amasanyalaze embeera gyebagaanye okugumikiriza. Bano balumbye ofiisi ya ssentebe w’akatale kano Jonathan Gitta nga baagala alekulire okujjako nga babadizzaako amasanyalaze. kino […]
Omulambo gwa Kagezi gutuuse mu maka ge- teri bannamawulire bakkiriziddwa munda
Poliisi ekyayiiriddwa mu maka g’omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi eyatemuddwa wali e Kiwatule. Abaserikale ba poliisi bebakuuma geeti nga era tebakkiriza munnamawulire yenna kuyingira munda. Abamu ku baserikale abatayagadde kwatulwa manya bategezezza nga ab’enyumba bwebasabye baleme kukkiriza munnamawulire yenna munda bafune akaseera okukungubaga. […]
Enteekateeka y’okulonda efulumya- kampeyini zitandika October
Akakiiko k’ebyokulonda kafulumizza enteekateeka yonna ey’okulonda kw’omwaka 2016 Okuwandiisa abagenda okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga kwakubaawo nga 5th October era nga kwakumala ennaku bbiri Abanesimbawo ku bifo by’okukiika mu palamenti bbo bakuwandiisibwa nga 9th ne 10th November 2015. Okuwandiisa abanesimbawo ku bifo bya gavumenti ez’ebitundu kwakubaawo […]