Amawulire

Afiiridde mu mpaka za Waragi

Ali Mivule

April 1st, 2015

No comments

Waragi kills man

Omuntu omulala afiiridde mu mpaka z’okunywa  waragi e Lwengo.

Gerald Kamulegeya akanuse oluvanyuma lw’okuwakanira eccupa za waragi 6 ku kyalo Kanoni.

 

Kigambibwa nti Kamulegeya abadde awunzika eccupa y’omukaaga n’atondoka n’afa.

Kitegerekese nti Kamulegeya ono okwetaba mu mpaka z’okwekamirira waragi alina ebbaala gyeyasoose n’ayiwamu obuccupa obuwerako.

 

Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga  Noah Sserunjogi ategezezza nga nga bwebakyayigga nanayini baala eyabinyise mu nsuwa oluvanyuma lwa Kamulegeya okufa.

 

Sserunjogi avumiridde abategeka empaka z’okunywa omwenge kubanga mufiiriddemu abantu banji ddala.

 

Kino kigyidde mu kiseera nga waragi kyaggye ate omuntu omulala e Ssembabule.