Amawulire

Ekisakaate kitongozeddwa

Ali Mivule

April 1st, 2015

No comments

Ekisaakate kitonmgozeddwa

Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda ayongedde okuggumiza obukulu bw’ekisaakaate ekitegekebwa mu Buganda naddala ku mutendera ogw’amasaza ng’essira erisooka kwekunnyikiza empisa ez’omuganda ennono n’obuwangwa bw’abaganda.

Bino bibadde mu bubaka bwe bw’atisse omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek  Nelson Kawalya bw’abadde aggulawo ekisakaate ky’amasaza ekyomulundi ogw’ekkumi wali ku matutuma mu ssaza lya Mukwenda e Ssingo ekiritandika nga 26 omwezi gwa kafuumuulampawu ogw’okuna, ku mubala oguvuze nti “Obuwangwa y’entabiro y’okwenyumiririzaamu”.

Ate yye Katikkiro wa Buganda Oweek Kaloori Petero Mayiga mu bubaka bwatisse omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Oweek Ahmed Lwasa asabye abazadde baddeyo ku nnono zaabwe okulondoolanga abaana gyebayita naddala ku masomero, kubanga abazadde abamu baakikwata bukusu nti omwana bwatuuka ku ssomero olwo nga biwedde.