Amawulire

Akabenje mu Morocco katuze 31

Ali Mivule

April 10th, 2015

No comments

Morroco

Abantu 31 bafiridde mu kabenje wakati wa bus ne loole mu ggwanga lya Morroco era ngabasinze okuffa babadde  baana basomero ababadde bava mu misinde gy’empaka.

Abantu abalala 9 balumiziddwa mu kabenja kano akagudde mu kibuga ekimanyiddwa nga Tan-Tan, ekisangibwa mu maseregenta g’eggwanga lino.

Okunonyereza kulanga ng’obubenje bwebweyongedde mu ggwanga lya Morocco era ng’abantu 10 bebafiira mu bubenje buli lunaku.