Amawulire

Amateeka ku bbaala e Lwengo

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

pool table new

Ab’ebyokwerinda mu bukiika ddyo bw’eggwanga bayisizza amateeka amakakali eri amabaala n’abazanya puulu mu disitulikiti ye Lwengo.

 

Aduumira poliisi mu kitundu kino  Maxwell Ogwal y’ayisizza amateeka gano mu lukiiko lw’ebyokwerinda mu disitulikiti ye Lwengo oluvanyuma lw’abatuuze okwekubira enduulu eri poliisi ku buzzi bw’emisango obususse.

 

Okusinziira ku batuuze abantu 3 bebakatibwa bukyanga mwaka guno gutandika nga olunwe okusinga balusonze ku mabaala gano n’abazanya puulu .

 

Bano bemulugunya ku bumenyi bw’amayumba obunyaguluzi n’ebirala ebikudde ejjembe mu kitundu kyabwe.

 

Ye ssentebe w’e gombolola ye Ndagwe James Mukasa agamba ababbi baamuyingiridde nebamutema engwala nebakuliita ne pikipiki ye.

 

Ggo amabaala ganenyezebwa kutegeka mpaka za kunywa waragi nga era bangi bazifiiriddemu.