Amawulire

Mbabazi awaddeyo ofiisi

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Abadde Ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi ategezezza nga abakozi ba gavumenti bwebakola eky’amaanyi okulaba nga gavumenti etuukiriza bulungi emirimu gyaayo. Mbabazi ategezezza nga bwagenda okuwandiika ku mirimu gy’abakozi b aba gavumenti okulaga ebirungi byebakolera eggwanga. Bino Mbabazi abyogedde awaayo ofiisi eri eyamudidde mu bigere Ruhakana Rugunda […]

abasoba mu 180 baayoleddwa mu bikujjuko bya Kampala

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Poliisi etandise okukumunta abo bonna abaakwatiddwa nga benyigira mu buzzi bw’emisango mu ntujjo ya KCCA eya  Kampala city festival eyabaddewo olunaku lw’eggulo. Abantu abasoba mu 180 baayoleddwa nga abasinga baakwatiddwa banyakula obusawo bw’abakyaala n’obusimu. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano  Patrick Onyango ategezezza nga mu […]

Pulezidenti alagidde ku musujja gwa Marburg

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni alagidde minisitule y’ebyobulamu eyanguwe mangu okusomesa bannayuganda ku musujja kattira ogwa Marburg. Minisitule y’eby’obulamu y’alangiridde nga ekirwadde kino bwekyasse omuntu omu olunaku olw’eggulo nga omulala ateberezebwa okubeera nakyo  y’akebeddwa nga era ebyavuddeyo bisuubirwa okufulumizibwa olwaleero. Pulezidenti era asabye abantu bonna okubeera bulindaala n’okwewala […]

Abalwadde basenguddwa e Mulago-emirimu gisanyaladde

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Emirimu gisanyaladde ku ddwaliro e Mulago ng’eddwaliro litandika okuddabirizibwa Abalwadde bonna ababadde mu waadi 1 1A, 2 A, 3 A, 4A, 5 A ne  6A basenguddwa okudda ku kizimbe okuli B ne C. N’awatuukira abayi ( casualty ) nawo bakyusiddwa nga kati abalwadde batuukira mu waadi […]

Embwa yesimbyeewo

Ali Mivule

October 3rd, 2014

No comments

Mu kibuga Oakland ekya California embwa yesimbyeewo ku bwa meeta Embwa eno ewagiddwa abamu ku bakulu ku kyaalo abagamba nti ejja kutegeera bulungi esonga zaabwe Abakulu bano abatambula n’embwa eno nga bagiyiggira akalulu bagambye nti kino bakikoze okujja obuyinza waggulu okubuzza mu bantu

Eid adhuha- abasiraamu mwegatte

Ali Mivule

October 3rd, 2014

No comments

Ekitebe kya Uganda Muslim Supreme Council kifulumiza entekateka za Eid Adhuha olunaku lw’enkya. Okusaala kwakutandika ku saawa 3 ez’okumakya wali ku muzikiti gwa Old Kampala era nga kwakulemberwamu mufti wa Uganda sheikh Shabana Ramadham Mubajje. Omwogezi wa Uganda Muslim supreme council Hajji Nsereko Mutumba asambye […]

Omwana asuuliddwa mu kabuyonjo

Ali Mivule

October 3rd, 2014

No comments

Entiisa abuutikidde abatuuze be Kalerwe mu Kibe zone bwebagudde ku mulambo gw’omwana ow’emyaka 5 nga gusuuliddwa mu Kabuyonjo. Jaaja w’omwana ono ategerekese nga Birungi agambye nti omwana ono  Samutha Talida yabula enaku 5, oluvanyuma lwokuwambibwa omusajja atanategerekeka. Kiteberezebwa okuba nti omwana ono yasoose kusobezebwako ngatanatibwa.

Museveni afunye omudaali

Ali Mivule

October 3rd, 2014

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yoomu ku bawereddwa emidaali mu bikujuko bya poliisi eby’okuweza emyaka 100. Museveni awedde omudaali olw’okubeera ekyokulabirako ekirungi eri abakulembeze abalala. Bw’abadde agaba emidaali gino, ssentebe w’akakiiko akagaba emidaali Gen Elly Tumwine asabye bannayuganda okuyiga okusiima abantu abakoze ebirungi nga tebanafa […]

Omusawo munnayuganda afunye Ebola

Ali Mivule

October 3rd, 2014

No comments

Omusawo munnayuganda ayatwalibwa mu ggwanga lya Sierra Leon okujanjaba ekirwadde kya Ebola akwatiddwa ekirwadde kino. Omusawo ono kati addusiddwa mu ddwaliro mu kibuga Frankfurt mu ggwanga lya German era ng’ayawuddwa ku balwadde abalala. Abantu abasoba mu 3,000 beebakafa ekirwadde kya Ebola mu mawanga ga West […]

Museveni agauddewo Omwoleso gwabannamakolero

Ali Mivule

October 3rd, 2014

No comments

  Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akunze  bannamakolereko okubeera abasaale mu kutumbula enkulakulalana mu ggwanga. Museveni okwogera bino abadde aggulawo omwoleso gw’abannakolera wali  mu kibangirizi ky’abwe e Lugogo. Museveni agambye nti gavumenti  yakwongera okulaba nga ebeeyi y’amasanyalaze eyongera okukka, okusobozeza bannamakolero okukola obulungi emirimu gyabwe. […]