Amawulire

Eid adhuha- abasiraamu mwegatte

Ali Mivule

October 3rd, 2014

No comments

Eid cup

Ekitebe kya Uganda Muslim Supreme Council kifulumiza entekateka za Eid Adhuha olunaku lw’enkya.

Okusaala kwakutandika ku saawa 3 ez’okumakya wali ku muzikiti gwa Old Kampala era nga kwakulemberwamu mufti wa Uganda sheikh Shabana Ramadham Mubajje.

Omwogezi wa Uganda Muslim supreme council Hajji Nsereko Mutumba asambye abantu okukuuma ebiseera.

Yye akulira abatabuliiki Sheikh Sulaiman Kakeeto asabye abayisiraamu okukozesa olunaku lwa Eid okutumbula obumu n’okumalawo obugulumbo obuludde nga bwawudde mu bakkiriza

Ono era agamba nti buli asaddaaka asabe nti obusiraamu butebenkere

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *