Amawulire

Omusawo munnayuganda afunye Ebola

Ali Mivule

October 3rd, 2014

No comments

Ebola again

Omusawo munnayuganda ayatwalibwa mu ggwanga lya Sierra Leon okujanjaba ekirwadde kya Ebola akwatiddwa ekirwadde kino.

Omusawo ono kati addusiddwa mu ddwaliro mu kibuga Frankfurt mu ggwanga lya German era ng’ayawuddwa ku balwadde abalala.

Abantu abasoba mu 3,000 beebakafa ekirwadde kya Ebola mu mawanga ga West Africa ate ng’abantu abasoba mu 7,000 beebakakwatibwa ekirwadde kino.

Mu buli ssaawa emu abantu 5 beebakwatibwa ekirwadde kino mu ggwanga lya SierraLeone

Wabula tetunaba kutegera manya ga musawo ono.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *