Amawulire

abasoba mu 180 baayoleddwa mu bikujjuko bya Kampala

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

festival city

Poliisi etandise okukumunta abo bonna abaakwatiddwa nga benyigira mu buzzi bw’emisango mu ntujjo ya KCCA eya  Kampala city festival eyabaddewo olunaku lw’eggulo.

Abantu abasoba mu 180 baayoleddwa nga abasinga baakwatiddwa banyakula obusawo bw’abakyaala n’obusimu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano  Patrick Onyango ategezezza nga mu baakwatiddwa bwemulimu n’abo ababadde ku bibaluwa bya poliisi bibakuntumye obuteyanjula nga bwebaali balina okukola.

Mungeri yeemu  Onyango ategezezza nga abaana 8 bwebalondeddwa oluvanyuma lw’entujjo eno okuggwa nga 4 baatwaliddwa bazadde baabwe nga abana bakyali mu mikono gya poliisi.

Abakyaali mu mikono gya poliisi kuliko  Silver Tumusiime, Talent Mulambira, Gerald Bendera ne  Bosco Atuhaire nga bagamba babeera Kamwokya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *