Amawulire

Mbabazi awaddeyo ofiisi

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Mbabazi handover 2

Abadde Ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi ategezezza nga abakozi ba gavumenti bwebakola eky’amaanyi okulaba nga gavumenti etuukiriza bulungi emirimu gyaayo.

Mbabazi ategezezza nga bwagenda okuwandiika ku mirimu gy’abakozi b aba gavumenti okulaga ebirungi byebakolera eggwanga.

Bino Mbabazi abyogedde awaayo ofiisi eri eyamudidde mu bigere Ruhakana Rugunda era neyeyama okubeerawo buli kiseera okujuza emiwatwa gyonna ku byatatadde mu alipoota y’okuwaayo ofiisi.

Akulira abakozi ba gavumenti  John Mitala  y’omu ku babaddewo nga Mbabazi awaayo ofiisi.

Yye Rugunda atenderezza nnyo Mbabazi olwokulwanirira abakozi ba gavumenti era n’asuubiza nti yye w’akomye yye w’atandikira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *