Amawulire

Omwana asuuliddwa mu kabuyonjo

Ali Mivule

October 3rd, 2014

No comments

toilet

Entiisa abuutikidde abatuuze be Kalerwe mu Kibe zone bwebagudde ku mulambo gw’omwana ow’emyaka 5 nga gusuuliddwa mu Kabuyonjo.

Jaaja w’omwana ono ategerekese nga Birungi agambye nti omwana ono  Samutha Talida yabula enaku 5, oluvanyuma lwokuwambibwa omusajja atanategerekeka.

Kiteberezebwa okuba nti omwana ono yasoose kusobezebwako ngatanatibwa.